POLIISI etandise omuyiggo ku bakyamufu abaludde nga bataataaganya amasannyalaze mu bitundu eby'enjawulo, olwo ne basaba abatuuze ssente okugazzaako.
Kino kisinze kulabikira mu bitundu okuli Bunnamwaya mu ggombolola ya Ssaabagabo Makindye e Wakiso, Kyengera, Nabbingo, Gayaza , Kabanyoro e Nakibimba e Mityana n'awalala.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti abamu bakwata mu tulansifooma ne baggyako amasannyalaze, abalala ne bakyusa layini z'abantu okubazza awalala ky'agambye nti kisaana okukomezebwa.
Agasseeko nti kamyufu yenna anaakwatibwa mu kikolwa kino, waakuvunaanibwa omusango gwa kulya mu nsi lukwe , ekibonerezo kusibwa myaka nga 15 oba okutanzibwa akawumbi.