ABANTU bazzeemu okujjumbira okukebeza abaana baabwe endagabutonde okukasa oba nga ddala baabwe.
Okukebeza endagabutonde e Wandegeya ku { GAL } omuntu asasula ddoola 100, z'ensimbi eziri eyo mu kakadde kamu nga n'emitwalo 20 , olwo n'ofuna ekituufu.
Omwogezi wa minsitule y'ensonga ez’omunda Simon Mundeyi, ategeezezza nti wiiki ewedde abantu abawera 94 , be baasaba okukebeza abaana baabwe n'agattako nti abasajja 95 ku buli kikumi be bagendayo, abakazi bali ebitundu 2 ku buli kikumi ate abaana bali ebitundu 3 ku buli kikumi.
Mundeyi alabudde abasajja abalina emitima eminafu okwewala okukebeza abaana, nti kuba ky'alibaviirako okufuna pressure oba endwadde endala ez'emitima.