Jim Muhwezi asabye abooludda oluvuganya okwegatta ku NRM bafune ebirungi bye baagala

Minisita omubeezi ow’obutebenkevu era nga ye mubaka wa Rujumbura mu paalamenti, Maj Gen Jim Muhwezi asabye abawagira oludda oluvuganya okwegatta ku kibiina kya NRM basobole okufuna ebirungi bye banoonya.

Jim Muhwezi asabye abooludda oluvuganya okwegatta ku NRM bafune ebirungi bye baagala
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision
#Amawulire #Jim Muhwezi #NRM #Ludda #Kuvuganya

Minisita omubeezi ow’obutebenkevu era nga ye mubaka wa Rujumbura mu paalamenti, Maj Gen Jim Muhwezi asabye abawagira oludda oluvuganya okwegatta ku kibiina kya NRM basobole okufuna ebirungi bye banoonya.

Muhwezi ng'abuuza ku balonzi be.

Muhwezi ng'abuuza ku balonzi be.

Muhwezi yasinzidde mu muluka gw’e Kikongi mu disitulikiti y’e Rukungiri bwe yabadde amaliriza okukyala lwe mu ggombolola y’e Bwambara ssaako okukunga bannakibiina kya NRM okumutekamu obwesige okumulonda mukamyufu k’ekibiina akagenda okubaawo ku Lwokuna nga July 14, 2025.

 “Eggwanga lyaffe tulabye ebintu eby’enjawulo ebikoleddwa mu Gavumenti ya Pulezidenti Museveni n’ekibiina kya NRM. Nsaba tuggyewo enjawukana ffenna twegatte tumuyiire obululu ssaako n’ababaka be mu kulonda okujja kwa 2026.” Muhwezi bwe yayongeddeko.

 

Yakuutidde abantu okwewala eby’obufuzi eby’obukyayi wabula babeere mu by’obufuzi ebibakulakulanya ate nga beetaba mu nteekateeka za Gavumenti ez’enjawulo kibayambe okuwagira abantu be baqgala ate nga bwe bongera ne kunnyingiza mu maka.

Ye ssentebe w’eggombolola ya Bwambara Chris Kagayano yategeezezza nti ebintu okuli amasannyalaze, enguudo okukolebwa, okusembeza amazzi, ssaako n’okuwa abantu ssente za PDM n’emyooga bibasanyudde era nti bakulonda Pulezidenti Museveni ne Muhwezi mu kulonda okujja.

Yagasseeko nti olw’okuba ebyokwerinda mu disitulikiti y’e Rukungiri biri ggulu ggulu, tebafunangayo bukyankalano bwonna era basuubira nti enteekateeka z’okulonda zonna mu disitulikiti zigenda kutambula bulungi.

Muhwezi avuganya ne Frank Arinaitwe mu kamyufu k’ekibiina nga kuno kwe kunaava anaakwatira NRM bbendera mu kulonda kwabonna mumwaka gwa 2026.