KOOTI enkulu mu Kampala egobye okujulira kw’abavubuka abagambibwa okulebula Pasita Robert Kayanja

KOOTI enkulu mu Kampala egobye okujulira kw’abavubuka abagambibwa okulebula Pasita Robert Kayanja kwe bassaayo nga baagala kkooti e Mengo okuddamu okukkiriza bannamawulire okukwata obutambi bw’ebifaananyi butereevu ng’entuula zigenda mu maaso.

KOOTI enkulu mu Kampala egobye okujulira kw’abavubuka abagambibwa okulebula Pasita Robert Kayanja
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KOOTI enkulu mu Kampala egobye okujulira kw’abavubuka abagambibwa okulebula Pasita Robert Kayanja kwe bassaayo nga baagala kkooti e Mengo okuddamu okukkiriza bannamawulire okukwata obutambi bw’ebifaananyi butereevu ng’entuula zigenda mu maaso.

Kyaddirira nga April 5, 2024, omuwaabi wa Gavumenti Jonnathan Muwaganya okwemulugunya ku bantu abagufudde omugano gw’okukubaganya ebirowoozo ku musango ogukyagenda mu maaso mu kkooti nga bakozesa obutambi abamawulire be bakwata.

Ono yasaba kkooti ebakugire ng’ewera bannamawulire okukwata buteerevu ebigenda mu maaso naddala abo abakozesa ebifaananyi n’amaloboozi era Omulamuzi Adams Byarugaba n’alagira nti tekiddibwamu okuggyako ng’alina ekiragiro ky’ayisa oba nga bamalirizza okwogera n’awa amagezi bannamawulire okutuulanga mu kkooti okuwuliriza n’okuwandiika ebigenda mu maaso ekyasigala kiwakanyizibwa abawawaabirwa.

Nga wayise emyezi 10, nga March 13, 2025, abamu ku bawawaabirwa Alex Wakamala ne Jamir Mwandha baatwala okwemulugunya mu kkooti enkulu ku ffayiri 0013/2025 nga baagala kkooti eno esazeemu ebiragiro by’omulamuzi Adams Byarugaba baddemu okuwa obujulizi nga bakwatibwa ku butambi butereevu.

Nga bayita mu bannamateeka baabwe, Boniface Lukwago ne Ronald Ssali, baawaayo okwemulugunya nga bagamba nti, si kyamazima na bwenkanya kkooti kulagira kintu kifaana ekyo era kirinnyirira eddembe lyabwe nga baagala biddeyo nga bwe byasooka nabo okwewozaako bakuweeyo ng’abamawulire bakwata butereevu ebigenda mu maaso.

Oludda oluwaabi nga lukiikiriddwa omuwaabi wa Gavumenti Jonnathan Muwaganya, yaawo okwemulugunya mu kkooti enkulu nti bano baamenya etteeka ly’okuwaayo okujulira nga baakuteekamu oluvannyuma lw’emyezi 10 ekitakkirizibwa mu mateeka ag’ennaku 14.

Mu ngeri y’emu, munnamateeka Lukwago yategeeza kkooti nti teyalina ntambula ya kkooti yonna nga bw’ebadde nga yeesigama ku nvuuvuumo z’abalala newankubadde kkooti enkulu yo buli kimu ebadde nakyo.

Omulamuzi David Matovu ng’awa ensala ye, yagambye nti, kkooti y’omulamuzi Adams Byarugaba bye yasalawo byali mu mutima mulungi era bya nkizo okukuuma omusango obutataaganyizibwa.

Yategeezezza nti kkooti yagaana kukwata butereevu bigenda mu maaso mu kkooti kyokka n’etakugira bannamawulire kubeeramu kuwandiika bigenda mu maaso.

Yakomekkerezza agoba okujulira kwabwe era n’asaba omusango okugenda mu maaso n’okuwulira wakati mu bwakkulizo obwamanyi nga kkooti yeesigama ku biragiro bye yayisa nga April 5, 2025.

Abawawaabirwa mwenda okuli Reagan Ssentongo, Peter Sserugo, Alex Wakamala, Labeeb Kalifah, Moses Tumwine, Martin Kagolo, Agrey Kanene, Israel Wasswa ne Jamir Mwanda bavunaanibwa ogw’okulumba ekkanisa y’omusumba Kayanja nga September 17, 2021 ne bamwogerako nti bamubanja ssente ze yabatuusizaako ebikolwa by’ekikukujju ekigambibwa nti si kituufu