ABATWALA eby'okwerinda mu kitundu kya Savannah ekitwala Luweero, Nakaseke ne Nakasongola batudde okusala entotto engeri y'okunyweza eby'okwerinda mu kulonda akamyufu ka NRM kasobole okugwa mu mirembe.
Tiimu okuva ku kitebe kya Savannah, ab'ekitongole ekiramuzi, abakulira enkambi z'amagye eziri mu kitundu kino omuli singo, Oliver Tambo ne Nakasongola, ba DISO, ba RDC n'abakulembeze ba gavumenti z'ebitundu baasisinkanye e Nakaseke okulaba engeri gye beeteekateeka mu kusunsula ababaka ba Palamenti ne ba ssentebe ba disitulikiti okunabaawo nga July 17.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti bambega baasabiddwa okuzuula ebifo ebiriko embiranyi okusobozesa abaduumizi ba poliisi okunywezaayo eby'okwerinda okusobozesa okulonda okugwa mu mirembe.
Mu disitulikiti ya Luweero bagenda kusinga kunyweza byakwerinda mu Katikamu North ne Katikamu South.
Mu Nakaseke batunuulidde amagombolola gano; Kyinyogoga, Ngoma ne Kinoni mu Nakaseke North.
E Nakasongola abakuumaddembe bassiddwa mu magombolola gano; Kakooge, Katuugp, Kalongo ne Wabinyonyi mu Nakasongola constituency ne Migyeera, Lwampanga, Kibuuka ne Lwabyata mu Budyebo constituency.
Abateeberezebwa okukola' effujjo nabo babataddeko eriiso ejjogi ssonga enkiiko z'ebyokwerinda zigendanga kutuula mu bbanka eggere okulaba nga banyweza eby'okwerinda okutuusa okulonda kwa bonna lwe kunaggwa omwaka ogujja.