ABATUUZE mu Kisenyi III e Luzira basattira lwa bucaafu obuyitiridde nga buva ku balandiloodi abatalina kabuyonjo ku mayumba gabwe kyebagamba nti kyekiviirako abapangisa baabwe okumala gamansa kasasiro ne kazambi buli webasanze.
Okuwanjaga kuno abatuuze bakukoze oluvannyuma lw’obucaafu omuli ne kazambi okuyitirira mu kitundu kyabwe nga kiva ku bantu abamumansaamu olw’obutabeera na kabuyonjo na bifo webakuumira kasasiro.
Ebinnya by'akazmbi
Betty Nanyonjo omutuuze mu kitundu kino, obuzibu obusinga abutadde ku balandiloodi abatayagala kusima kaabuyonjo na kuteekawo bifo mukuumibwa kasasiro ku mayumba gaabwe nga enkuba oluba okutonnya olwo abapangisa nebamusuula mu myala okumwewonya.
Kino kiviiriddeko obucaafu okweyongera mu kitundu nga buli enkuba lw’etonnga nga kasasiro ono akulukutira mu bantu wamu n’okuzibikira emyala ekireesewo okutya nti bandirumbibwa amataba n’endwadde eziva ku bucaafu.
Nanyonjo ategezezza nti abantu abasinga bebeyambira mu buveera olwo nebalinda obudde okuziba nebabukasuka mu batuuze ekijja okubaleetera endwadde.
Asabye abakulembeze obutalinda bantu kufa olw’endwadde eziva ku bucafu wabula basitukiremu banogere ekizibu kino eddagala nga bawaliriza balandiloodi akuzimba zi kabuyonjo bwekiba si ekyo amayumba gaabwe gaggalwe.
Charles Kisekka ategezezza nga obucaafu buno obumu bwebuva mu batuuze bennyini abazoibira abantu abamansa kasasiro nga kino kiviiriddeko omue guno okweyongera.
Akazambi atabudde ab'e Luzira
Ssentebe w’ekitundu kino Muhammad Musibankutu, yenyamidde olw’omuze gw’obucaafu obususse mu kitundu kyabwe n’asaba abakulembeze nga KCCA bakwasise amateeka okuyambako ku nsonga eno.
Akukkulumidde balandiloodi abanyunyunta ensimbi mu mayumba gabwe Kyokka nga tebasobola kuteekawo kabuyonjo ky’agamba nti kisibye obucaafu mu kitundu olw’abapangisa okubulwa webeyambira.
Musibankutu akukkulumidde abateeka ebyobufuzi mu nsonga z’obulamu n’abasaba okukikomya kubanga kinyigiriza batuuze.
Aweze nga bwebagenda okuttukiza okuyigga abo bonna abamala gamansa kasasiro ne kazambi bakwatibwe era bavunaanibwe nga bagenda kutandikira ku balandiloodi.