KATONDA yatonda ekitonde ekisajja nga kirina okuba eky’amaanyi. Era omusajja ateekwa okukola eby’amaanyi okutwalibwa ng’omusajja owa nnamaddala. Oyo alemwa okukola eby’amaanyi, alabwa mu ngeri ya musajja atatuukiridde.
N’abakazi bwe batuuka okunoonya abasajja ab’okufumbirwa, baliko ebintu bye basuubira mu musajja okuba ng’abirina era oyo y’atwalibwa okuba omusajja owa
nnamaddala. Faaza Deo Kiibi Kateregga, okuva mu kigo kya St.Joseph’s Catholic Parish e Mpigi, bwe yabadde mu mwoleso gwa Bride & Groom e Lugogo, yasomesezza
ku bintu ebyoleka omusajja owa nnamaddala. Yagambye nti; Ebitabo ebitukuvu biraga nti Katonda yatonda ebintu byonnan’abissa mu nsi era olwabimala, n’atonda omusajja oluvannyuma n’atonda omukazi. Kino kyoleka nti omukazi yalina okujja okwegatta
ku musajja ng’omusajja amaze okubaako kye yeekoledde.
Era ne mu maka, omulenzi avubuka, akuzibwa n’ateekebwateekebwa okubeera ow’amaanyi era n’abeera mu mbeera emufuula ow’amaanyi ne bw’aliba ng’afuuse musajja. Mu bufunze, omusajja owa namaddala abeera kamalabyonna era bino wammanga by’ateekwa okuba nabyo;
1. Alina okuba nga y’asinga amaanyi: Omusajja owa nnamaddala, abantu b’awaka balina
okubeera nga bamukkiririzaamu ng’omuntu asinga mu buli kimu. Era nga buli kigwawo, bakijuliza ye nga kamalabyonna nga tewali kugamba nti tweyambe nga bakimanyi nti ne bw’anadda, tewali ky’agenda kukolawo. Ne bwe giba misango ng’abaana bagizzizza, maama abeera agenda kujuliza ye.
2. Akozesa amaanyi ge n’alabirira amaka ge: Omusajja omutuufu omulabira ku buvunaanyizibwa era n’abeera nga y’akulira amaka. Omusajja yenna alina kuba ng’akozesa amaanyi Katonda ge yamuwa, n’alabirira abantu b’omuka ge. Omusajja omufumbo taba mwavu, ne bw’abeera ng’abadde ku ndiri olina okuba ng’awaayo eri ffamire ye.
3. Alina okuba nga si mutiitiizi: Omusajja owa nnamaddala talina kuba mutiitiizi. Akola okusalawo okw’amaanyi okutaasa maka ge era ekyo kye kyawula omukazi alina omusajja awaka n’oyo atalina musajja. Taata abeera ng’ekintu kyonna ekikwata ku maka ge avaayo n’amaanyi ate nga mwenkanya. Alina okuwaayo obulamu bwe ku lw’omukyala, abaana n’abantu b’omu maka ge mu mbeera zonna. 4. Aba mupambanyi
era nga mukozi: Ennaku zino, abalenzi abamu bakuziddwa na kisa. Ate ng’omusajja yenna alina kubeera mupambanyi okuyimirizaawo amaka ge.5. Mukulembeze:
Omusajja alina okuba nga buli waali, mukulembeze, ng’awaka faaza era
nga waali wagumu nga ab’awaka bakiwulira nti bw’abaawo bagamba nti ono ye taata. Mu kino mulimu okwewaayo, okwefiiriza okuva mu bulamu obubwo n’odda mu
bw’abantu bwo ng’omukulembeze.
Ate nga weesembyayo. Y’ensonga lwaki ne mu nsi ezaakulaakulana edda omusajja y’asembayo okulowoozebwako ng’abasooka okutwalibwa ng’ab’amakulu ye mukyala n’abaana.
6. Omusajja owa nnamaddala, ggwe aba asinga okumanya: Abawala bangi balina obuntu obutono bwe batunuulira ne balaba nti omusajja gwe bagenda naye nti wa ddala. Oba wasoma oba tewasoma omusajja awaka olina kuba ng’oli mumanyi. Ggwe abeera amanyi bizinensi eziriko, ggwe abeera amanyi ebigenda mu maaso mu ggwanga n’ensi yonna ng’olina ebintu ebimu by’omanyi ng’omusajja wekka.
7. Eddiini y’omusajja owa nnamaddala, y’eba eddiini egobererwa awaka: Awaka omusajja owa nnamaddala kikukakatako okulaba ng’eddiini yo awaka y’egobererwa
abaana n’obatwala mu Kleziya, mu Kkanisa oba mu Muzikiti. Erinnya lya taata lya maanyi era alina okukulemberamu mu bya Katonda.
8. Obeera mukuumi awaka. Olina okulaba nga ffamire yo ekuumibwa era obeera kyakwerinda, ky’ova olaba ng’abasajja bazimba ebikomera okukuuma abaana
baabwe. Omusajja taasa mukyala wo bannakigwanyizi. 9. Beera mugabirizi: Omusajja awaka obeera omuntu asobozesa = ebitasoboka, owatanya ekitaliiwo n’okissaawo. Ng’okakasa nti abaana basoma, omukyala n’abaana bafuna ekyokulya, basula bulungi, bafuna obujjanjabi n’ebirala. 10. Omusajja owa nnamaddala asalawo amaka ge gye galaga. Oyagala awaka abaana bakuzibwe mu mbeera ki? Amaka go gakwate wa? Ggwe abivunaanyizibwako.
11. Olina okuba nga awaka owulirwa: Nga towulirwa lwakuba nti oboggola nnyo oba nti oli mukambwe naye bikolwa era g’ekitiibwa kyo kiviira ddala mu
bikolwa nga ne bwe wabaawo ekizibu oba omwana agaanyi okuwulira nga bamugamba nti taata wo k’anadda, onaamuwulira.
Era omusajja awaka, ggwe mutwe: Olina okuba nga wootali, ebintu bizibuwala. Omusajja obeera otya n’omukyala nga mu ngoye ze talinamu lwe wamugulira?
13. Okwagala mukazi wo = Omusajja ky’osobola okuwa omukazi n’abantu b’omu maka
gwe mukwano. Naye laavu eno erina kuva mu bikolwa ng’olabirira ab’omu maka go bonna.
14. Omusajja owa nnamaddala tawanika: Atomera era agwa emirundi naye tawanika nti alemeddwa.
Engeri omusajja gye weeyamba okufuuka omusajja owa nnamaddala
Okukulembeza Katonda: Okwesabira kikulu kuba Katonda ye yawa omusajja obuvunaanyizibwa obwo.
Waliwo ebintu ebizitoya ffamire era ng’omusajja ky’asobola okukola, kwekwasa Katonda okubivvuunuka.
l Okwekuuma n’obeera mulamu: Omusajja talina kubeera luyongoyongo.
Omusajja olina okwekuuma ng’oli ffiiti era ng’okola ne ku dduyiro okuume omubiri nga mulamu kuba ggwe yingini awaka. l Funa omukazi omu.
Abasajja abamu bakutuka lwa muwendo gw’abakyala be beegatta nabo. Omusajja kyandibadde kirungi n’otereera n’omukyala omu.
l Sanyusa obulamu bwo. Wadde ebizibu bingi gezaako
okukakasa nti obikwata mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa bireme kukutta. Bw’oba onyumirwa ka myuziki genda onyenyeemu ak’olumu, bw’oba owoomerwa kanyama kalyeko ne bw’oba onywamu, nywamu ak’obuvunaanyizibwa osanyuse
obulamu kuba obulamu bwo bwe buba busanyufu n’ab’awaka bo basanyuka
OMUKAZI BY’OKOLA EBIYAMBA OMUSAJJA OKUFUUKA OWA NNAMADDALA
1. Okumatira: Abakazi abamu tebamatira, ebigambo bye bakozesa eri abasajja mu maaso g’abantu bibaswaza era bibamalamu amaanyi. Omukazi oyimirira otya mu maaso g’abantu n’oyogera ku balo nti tamalaako.
Omusajja oyo oba omaze okumumalamu
okwekkiririzaamu. 2. Okumuwagira n’okumuzzaamu amaanyi: Omusajja alina omukazi amuwagira ne by’akola bitambula era buli mabega w’omusajja omuwanguzi wabaayo omukyala n’olwekyo omukazi olina okuba omuwagizi wa balo okusobola okumuzimba okumufuula omusajja owa nnamaddala. 3. Omukyala olw’eddoboozi lyo eddungi wandibadde olikozesa okwogera ebigambo ebiyamba omusajja ono okuva mu kubeera omulenzi n’afuuka omusajja owa nnamaddala.