kkootiBakaaba lwa mwala gwa Nateete - Nakawuka

ABANTU abakozesa oluguudo oluva e Nateete okudda e Nakawuka basobeddwa olwa bakkontulakita abaakwasibwa omulimu gw’okuzimba omwala okuluggala kati emyezi esatu.

Abakola omwala guno nga bali ku mulimu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU abakozesa oluguudo oluva e Nateete okudda e Nakawuka basobeddwa olwa bakkontulakita abaakwasibwa omulimu gw’okuzimba omwala okuluggala kati emyezi esatu.
Omwala guno gugatta ku gw’e Nalukolongo, ku gw’e Nateete mu Kigagga nga mu kiseera kino bali mu kaweefube wa kugugaziya okugonjoola ekizibu ky’amazzi aganjaala buli enkuba lw'etonnya.
Okuva mu February w’omwaka guno, oluguudo luno olwali lweyambisibwa aba ttakisi, ttuku ttuku ne bodaboda lwaggalwa ekireeseewo okusoomoozebwa.
Fred Ssenfuka, omuwandiisi ku siteegi ya Kasanja Nakawuka yagambye nti mu kiseera kino basoomoozebwa olw’olugendo lwe beetooloola okudda ku lw’e Nakawuka nga ne ppanya eziri mu paaka y’e Nateete n’eya Samona, za kusasula wakati wa 1,000/- ne 2,000/- buli lunaku.
Ssenfuka agamba nti ekkubo eritali lya kusasulira ffunda nnyo ekireetera akalippagano ak’amaanyi. Ezra Muwangaddeereva ku siteegi eno ayagala kontulakita eyakwasibwa omulimu guno abateerewo olutindo okubanguyiza.
Embeera tekosa ba bidduka bokka wabula n’abalina bizinensi naddala ab’ebyuma ebikuba obuwunga ssaako abatambuza ebyamaguzi eby'enjawulo.
Tom Kijjambu, ssentebe w’abavuzi ba ttuku-ttuku e Nateete agamba nti bakolera mu kunyigirizibwa olw’omwala ogutaggwa kyokka bwe babuuza abakulembeze, babajuliza KCCA ne minisitule y’ebyenguudo.
Abakozesa oluguudo lwa Nateete - Busega balaajana lwa kazambi akulukutira mu luguudo ssaako enfuufu evuddeko n’abamu okuggalawo bizinensi naddala abatunda ebyokulya.
Joyce Namuli, omufumbi wa caayi ku Mackay Road agamba nti ekivundu kimugobedde bakasitoma era eby’okukola yabivaako nga yeebuuza ab’e Nateete gwe bazza?
Ssentebe w’abagoba ba ttakisi mu ggwanga, Rashid Ssekindi yagambye nti paaka y’e Nateete n’eya Samona za bwannannyini wabula baakutuukirira KCCA ne minisitule okulaba bwe bayinza okuyambamu abantu baabwe.
Omubaka wa Lubaga South, Aloysious Mukasa yategeezezza nti baludde nga balaajanira KCCA ku mbeera eriwo kyokka nga tefaayo. "Okuzimba omwala kirungi era tukyagala wabula tusaba kikolebwe mu budde abantu baleme kunyigirizibwa," Mukasa bwe yategeezezza
Omwogezi wa minisitule y'ebyenguudo n'entambula, Susan Kataike yategeezezza nti omulimu guno guli mu mikono gya KCCA
wabula buli we wabeerawo okwemulugunya bakiteeka ku minisitule.
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine yategeezezza nti minisitule y’ebyenguudo ne KCCA bakolera mu Gavumenti y’emu n’asaba abantu okugumiikiriza kuba okunyigiriza kwe bayitamu kwa kaseera kigere