IRAN egudde mu lukwe lwa bambega ba Yisirayiri aba Mossad okutta omukulembeze waabwe ow’oku ntikko, Ayatollah Ali Hossein Khamenei, Yisirayiri gw’egamba nti wa busagwa nnyo eri ensi yaabwe, era okufuna ku mirembe alina kuvaawo.
Amawulire agava mu Iran okusinziira ku nsonda mu magye ga Iran aga Islamic Revolutionary Corp Guards, galaga nti Ayatollah kati akuumibwa butiribiri era yazzeeyo dda mu mpuku ze wansi mu ttaka, gy’asinziira okuwa ebiragiro.
Netanyahu Owa Yisirayiri.
Mu kiseera kino baamuggyeeko amasimu n’ebintu byonna ebikozesa amasannyalaze, Yisirayiri by’esobola okulondoola n’emanya enfo we yeekukumye. Era ebiragiro bye kati babitambuliza mu mabaluwa ng’ ababitambuza be bantu be ab’oku lusegere, nga nabo tebakkirizibwa kukwata masimu n’ebyamasannyalaze ebirala.
Era Ayatollah yaggyiddwa mu ofiisi ye era awali amaka ge, amakulu mu massekkati g’ekibuga Tehran, agamanyiddwa nga ‘Beit Rahbari’, nga kati ali mu mpuku etamanyiddwa kifo kituufu weeri, gy’agenda okubeera paka nga bakakasizza nti obulamu bwe tebukyali mu matigga.
Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa Fars News Agency, ogukolagana obutereevu n’amagye g’eggwanga, bambega ba Yisirayiri be bazze bakwata okuva olutalo bwe lwabalukawo nga June 13, 2025, mu kikwekweto Yisirayiri kye yatuuma ‘Operation Lising Lion’, be baabuulidde ab’ebyokwerinda ku nteekateeka eno ssejjoloola, ey’okutta Ayatollah.
Yisirayiri egamba nti Ayatollah gwe mutwe gw’omusota era bwe banaaba tebanamutta, Yisirayiri tejja kufuna mirembe, kubanga obulamu bwe bwonna abumazeeko ng’akuma omuliro mu bantu ba Iran n’okuyambako obubinja bwa bamukwatammundu mu kyondo kya Buwarabu, okukola ennumba ku Yisirayiri.
Bajuliza ekitabo Ayatollah kye yawandiika ne kituumibwa Palestine: The Most Important Problem of the Islamic World: Selected Statements by Ayatollah Khamenei About Palestine. Mu kitabo kino, Ayatollah agamba nti ne bwe buliba ddi Yisirayiri erina okuvaawo, kubanga gwe mutima gwa sitaani omukulu (Great Satan), nga ye America, w’esinziira okutawaanya amawanga ga Buwarabu.
Katikkiro wa Yisirayiri Benjamin Netanyahu mu bigambo bye by’azze ayogera, ajuliza nnyo ekitabo kino nti singa beebaka bwebasi ne batasanyaawo Ayatollah n’obukulembeze bwe, Yisirayiri yaakusaanawo.
Yisirayiri era egamba nti Ayatollah yalagula nti Yisirayiri ejja kusaanawo mu 2040, era mu 2017, n’ateeka essaawa ennene mu kibangirizi kya Palestine Square, ng’ebala ppaka mu 2040 Yisirayiri lw’eneeggwaawo. Wano Yisirayiri ng’eyita mu Mossad weeyagalira okusaanyaawo Ayatollah, aleme kuteekateeka kusaanyaawo Yisirayiri nga batunula.