Abadde mu Njiri ku church ya Pastor Sennyonga bamubbyeko omwana wa myezi ebiri

Omwana ow'emyezi ebiri abbiddwa okuva ku nnyina abadde mu njiri ku kkanisa ya Christian Life Church e Makerere Kavule mu Kampala.  

Abadde mu Njiri ku church ya Pastor Sennyonga bamubbyeko omwana wa myezi ebiri
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Omwana ow'emyazi ebiri, abbiddwa okuva ku nnyina abadde mu njiri ku kkanisa ya Christian Life Church e Makerere Kavule mu Kampala. 

Omwana abbiddwa omukazi ategerekeseeko erya Shanita eyefudde ayamba Grace Tumusiime ( maama w'omwana )gwe baludde nga basaba bombi, okumumusitulirako. 

Bino, bibaddewo ku ssaawa ng'emu ne ddakiika 20 akawungeezi  eggulo ,bwe yabadde amuzazise wansi nga bali mu kusaba. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, asabye abantu okuyambako mukunoonya omwana ono asobole okuddizibwa, bakadde be.