Poliisi ekutte babiri ku by'okutta ssentebe w'ekyalo e Nakaseke

POLIISI y'e Nakaseke ekutte abantu babiri bagiyambeko okubuuliriza ku kutemulwa kwa ssentebe w'ekyalo Wabuloolo mu ggombolola y'e Wakyato.

Francis Sebyala
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision
POLIISI y'e Nakaseke ekutte abantu babiri bagiyambeko okubuuliriza ku kutemulwa kwa ssentebe w'ekyalo Wabuloolo mu ggombolola y'e Wakyato.
 
Omulambo gwa Francis Sebyala gwasangiddwa gusuuliddwa mu lusaalu mu kisawo nga guligiddwa emiguwa.
 
Omugenzi yali ayambudde essaati ya kyenvu eya NRM ey'emikono emiwanvu n'empale eya kitaka.
 
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti baafuna amawulire g'okubula kwa ssentebe okuva ewa mukyalawe Robinah Nabagesera nga July 17 eyabategeeza nti bwe yagendako mu katawuni e Butalangu teyaddamu kukubikako kimunye.
 
Wano we baatamdikira okusamba ensiko okumuyigga ne bazuula omulambo nga July 19 nga gusuuliddwa mu lusaalu.
 
Omulambo gwatwaliddwa e Nakaseke okwekebejjebwa nga bwenoonyereza nga ekozesa ababiri abaakwatiddwa.
 
Abatuuze bagamba okufa kwa ssentebe waabwe kulabika kwekuusa kunkaayana za ttaka.