AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu Uganda Hajati Hadijah Namyalo alidde matereke ne beeyasanze bajjuliza ku poliisi y’e Kamwokya empapula za “DR Form” ez’ebyavudde mu kalulu ka LC. 5 ne ba meeya mu Kampala kamyufu ka NRM.
Namyalo nga yakulira okulondoola ebigenda mu maaso mu kulonda kwa kamyufu ka NRM mu Kampala , Wakiso ne Mukono leero akedde kulambula buli kifo kye babadde balonderamu mu bifo ebyo.
Hadijah Namyalo ng'alondoola okulonda
Asookedde ku Musajja Alumbwa mu Kisenyi gye yasanze ng’abavubuka bwe gwa mu bulago nga buli muntu alumiriza munne okwekobaana okukyusa ebyavudde mu kalulu k’omuntu we.
Namyalo ng'akub amasimu ag'okumukumu
Wabula oluvannyuma Namyalo ayise poliisi ne batawulula eno bwe yavuddeyo agenze butereevu mu Church zone abatuuze gye bamutegereeza nti bwe bamaze okulonda abamu ku bakuliddemu okugatta ebyavudde mu kalulu ne babisitula ne babitwala butereevu ku poliisi y’e Kamwokya ku katale gye baabadde babigattira nga tebakkirizaayo muntu waabwe n’omu.
Hadijah Namyalo ng'akuba amasimu ag'okumukumu
Amyuka ssentebe wa Kisenyi One zooni mu Kampala mu kibiina kya NRM Ssalongo Jjuuko ategezezza nti ekikolwa ky’okugattira ebivudde mu kulonda nga mwekwese ku poliisi kyokka nga ne ba ajenti baabesimbyewo tebakkirozibwawo kikyamu kubanga tebakomye ku kugattirawo byavudde mu Chiurch zooni yokka wabula ne Kamwokya mu Kifumbira , Market zone byonna babigattidde ku poliisi,
Namyalo asabye abakulira okulonda mu kibiina kya NRM okutunnula mu nsonga eno kubanga tebubeera bwe nkanya.