ABANTU abawerako abagambibwa okwenyigira mu bikolwa eby'efujjo ng'okugezaako okukyusa ebyavudde mu kulonda bakwatiddwa.
e Mayuge mu Ggombolola y'e Malongo, abantu Bataano bakwatiddwa nga kuliko ne NRM registrar , ne babaggalira e Mayuge nga kuno kuliko Isaac Birabo, polling Assistant, Catherine Ndibawaaki Agent, Ali Kasadha , Godfrey Bogere ne Dennis Bongo .
E Iganga e Kasoko Central Division, kigambibwa nti nayo, wabaddeyo akavuyo era okulonda kwayimiriziddwa. Mu Nothern Division nayo wabaddewo obubbi n'ebikolwa eby'efujjo era abamu ku balonzi balumiziddwa , nga kigambibwa nti kyavudde ku ggaali eyabaddemu abavubka nga 30.
E Namayingo, eriyo e mmotoka y'omubaka Micheal Wannyama Odwale eyayonooneddwa ku kyalo Bumooli mu Ggombolola Buswale . Eri UAK 066 M Ipsum bwe yabadde ava e Kibimba okudda e Bugiri , nti bwe yatuuse e Lubira ne bamusalako abavubuka abaabadde batambulira ku pikipiki ne bayoonoona emmotoka ye.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo , agambye nti e Bugiri George Martine Magero omwami ow'omuluka gw'e Isakabusolo mu Ggombolola y'e Bulidda, akwatiddwa poliisi oluvannyuma lw'abalonzi okumulumiriza okugezaako okukyusa ebyabadde bivudde mu kulonda
Mu disitulikiti y'e Namayingo Ronald Ssanya yawangudde okukwata bendera ku LC5, e Mayuge David Zinjam e Iganga Ezra Ggabula