EKIBIINA kya National Economic Empowerment Dialogue(NEED) kitongozeddwa mu butongole era Pulezidenti waakyo Joseph Kabuleta akakasizza nti baakusimbawo abantu ku bifo byonna okwetoloola eggwanga.
Omukolo ogw’okutongoza ekibiina kya NEED gwabadde ku kitebe ky’ekibiina e Kabalagala nga gwetabiddwako Bannabyabufuzi ab’enjawulo nga Pulezidenti wa NEED Joseph Kabuleta gye yasinzidde n’ategeeza nti baakusimbawo abantu ku bifo byonna okuli n’ababaka ba Palamenti.
Kabuleta yategeezezza nti baafunye Satifi keeti ekakasa ekibiina kya NEED okuva mu kakiiko k’ebyokulonda nti kati bali bulindaala okusindika abantu abaagala okwesimbawo ku bifo eby’enjawulo.
Kabuleta yatongozza ne kaadi z’ekibiina n’ategeeza nti zitandikira ku 5,000/- era n’akoowoola abantu abaagala okwesimbawo ku kaadi ya NEED okutwala okusaba kwabwe ku kitebe kya NEED e Kabalagala era n’ategeeza
nti n’abanene abaagudde mu kamyufu ka NRM ku bifo by’Ababaka ba Palamenti baakwanirizibwa mu NEED.
Kabuleta era yalangiridde nti waakuddamu okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu akajja era n’asaba abalonzi okwetegereza ennyo abakulembeze be balonda n’ategeeza nti omulamwa gwa NEED bantu kubeera na ssente mu nsawo.