Abadde amaze akaseera ng'anyaga abantu be Gayaza babadde bamusse!

OMUSAJJA aludde ng'abba abasuubuzi b'e Gayaza kabuze katono bamumize omusu lwa kunyakula ssimu ku mwana ow'emyaka 15 n'agikwasa banne bwe babbira mu kibinja ne badduka ye abasuubuzi ne bamutayiiza ne bamuyisaamu ensamba gere saako n'omumwambula ono yatuuse n'okwenyaga

Moses Mukasa agambibwa okubeera omubbi
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision
OMUSAJJA aludde ng'abba abasuubuzi b'e Gayaza kabuze katono bamumize omusu lwa kunyakula ssimu ku mwana ow'emyaka 15 n'agikwasa banne bwe babbira mu kibinja ne badduka ye abasuubuzi ne bamutayiiza ne bamuyisaamu ensamba gere saako n'omumwambula ono yatuuse n'okwenyaga .

Moses Mukasa 40 eyagambye nti abeera  ku Kaleerwe  engyogera egamba nti ennaku z,omubbi ziba 40 ku luno ezize zabadde ziweddeyo bwe yabadde ne banne ne banyakula essimu ekika kya Vivo ku  Denzel Ruth  Nanziri eyakubye enduulu eyasombodde abasuubuzi ne batayizzako Mukasa abalala ne badduka ne bamuyisaamu ensamba gere n,agakonde nga poliisi ye Gayaza yagenze okutuuka nga yenyaze 
Moses Mukasa ng'abantu bamutwala

Moses Mukasa ng'abantu bamutwala

 
Mukasa yasoose kwegaana  ng,agamba tabangako mubbi wabula omu ku basirikale eyazze okumutaasa olwa mulabye namugamba lera gwe lwaki tova mu bubbi  kino kyayongedde okutabula abasuubuzi ne bamwongera okukuba abasirikale ne bamujjawo, Mukasa oluvannyuma yasabye ekisonyiwo ng,essimu yabadde agiwadde banne ne badduka nayo , yatwaliddwa ku poliisi ye Gayaza ng,okunoonyerezza bwe kugenda mu maaso.
 
Abamu ku basuubuzi okwabaadde Kato Mugerwa , Anet Nakalazi n,abalala balumiriza Mukasa nga bwaludde ng,abba nga bayingira mu madduuka ne banne ne babbamu ssente n,ebintu ebikalu okuli essimu n,ebirala nga ku luno baasobodde okumutayiizza ne bamukwata .
 
Baagaseeko nti Mukasa babba n,aba mobile Money nga befudde abagala okubasindikira ssente oba okujjayo oluvannyuma ne badduka