ENGUMI n’okusamuka kw’e ntuuyo kwasanikidde abalabi b’ebikonde abakulembeddwamu akulira offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo nga bamusaayi muto bayoleese ebitone.
Abavubuka abaabadde ab’obuzito obw’enjawulo okuva mu ttiimu ezimanyiddwa mu ggwanga okuli Lukanga, Zebra, UPDF, KCCA, Kololo High, Kiwatule, Kalinabiri n’e nddala be batunsse mu nnwana 25, nga buli omu alwana kuyitaawo okusobola okwerula emikisa gye okuzannya z’amakalirizo nga December/26/2025.
Abazannyi b'ebikonde nga beeraga eryanyi
Olulwana luno lwabaddewo ku Lwomukaaga ekiro nga July, 26,2025, ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo mu mpaaka za “Uganda Boxing Champions League” ez’oluzannya olwokuna [Season 4, - Week 7
Alex Kanaabi 23, owa KCCA boxing Club ne Nerrick Tumusiime 20, amanyiddwa nga Nerrick Bulabe omuyizi wa Kololo High School be baabadde abazannyi b’olunnaku era nga zagenze okuggwa nga Kanaabi awangudde ku bunonero 5:0 nasitukkira mu ddoola 600. Eza wano [2,160,000/=] ate Nerrick Bulabe nawangula 1,500,000/= gattako Hajjat Namyalo okweyama okumusasulira fiizi we owa ttaamu ey’okusattu n’e byetagisa byonna.
Namyalo teyakomye ku bano bokka okuwa ensimbi wabula n’abalala ab’enjawulo abawangudde nga olulwana lwabwe nga abaawa akakadde k’ensimbi.
Abantu nga banyumirwa ebikonde
“Mu kiseera kino abavubuka mwenna abali mu ssomero n’abo abatasoma mu kimanye nti Pulezidenti Museveni ne maama Janet Museveni befunyiridde okulaba nga bateeka ssente mu kutumbula ebitone byamwe era ye nsonga lwaki yataddemu ssente zino okubawagira oluzannya luno lubeerewo era ye nsonga lwaki ndi wano” Namyalo bweyategezezza.
Ennwana zino zajjumbiddwa nnyo abantu abanenne mu ggwanga bangi okuli ne Pulezidenti w’e bikonde Moses Muhangi, omumyuka we Sula Kamoga, RCC wa Kampala Central Shafic Nsubuga, omuyimbi Nina Rose, nakingu mu kukyanga ebikonde Zebra Ssenyange Jr, n’abalala bangi.
Muhangi yasimye Pulezidenti Museveni okwagala ennyo ab’ebikonde n’okubasindiikira nga Namyalo abayamba ku kulaba nga ezannya zino zibeerawo.
Oluzannya lwa Kanabi ne Nerrick Bulabe terunatandiika wasoosewo abalala okwabadde Edward Mukwaya owa Kiwatule ng’azannya ne Juma JjukoKololo High mu buzito obwa 71Kgs.
Mukwaya yakubye Jjuko nguumi tonziriranga mu luzannya olw’okubiri n’alambaala era abasawo beebamuggyewo nga takyasobola kuyimirira.
Akulira ekibiina ky'ebikonde mu ggwanga Moses Muhangi ng'anyumirwa ebikonde
Mu ngeri y’emu ne Bashir Ssenyange yakubye Shafic Kabugo enguumi tonziriranga mu luzannya olw’okusattu naye nagwa wansi nawunga okumala ekiseera ne bamutwala nga bamuwaniridde okumufulumya emiguwa.
Abalala abazannye kwabaddeko Brian Nkurunziza owa Kololo yakubye John Musisi 4-3 mu buzito obwa 54kgs, Bantam elite” ate John Ssemugayire owa Katabi yakubye Yasin Kintu owa Ssaku 5:0 mu buzito bwa “Middle 75kgs Elite”.
Arafat Kibirige owa Lukanga yayisemu nga talwanye munne Adam Jamidali owa UPDF bweyatidde n’atalabikako.
Abawala mwetabiddwamu Swaburah Nakato owa Lukanga yawangudde Peace Nakabira mu buzito bwa “Heavy 81Kgs Women Elite” era nga bano bassanyusizza nnyo abalabi olw’omutindo gwe bayolesezza