Kitalo! Akabenje kagudde e Mbikko omuntu omu n'afiirawo!

Omuntu omu afiiridde mu kabenje akagudde e Mbikko ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja mmotoka bw'emutomeredde okumpi ne Friends Corner e Mbikko.

Kitalo! Akabenje kagudde e Mbikko omuntu omu n'afiirawo!
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Kufa #Muntu #Kabenje #Mbikko #Poliisi

Omuntu omu afiiridde mu kabenje akagudde e Mbikko ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja mmotoka bw'emutomeredde okumpi ne Friends Corner e Mbikko.

Kigambibwa nti emmotoka nnamba UAH 907 J Corona ng'evugibwa Andrew Serujongi ng'eva Jinja okudda e Kampala, bw'emulemeredde n'etomera omusaabaze abadde agezaako okusala oluguudo.

Afudde, ategeerekese nga Joseph Kaweesa era nga bagezezzaako okusooka okumutwala mu ddwaaliro e Jinja, n'afa nga yaakatuusibwayo.

Omwogezi wa poliisi mu Ssezzibwa Hellen Butoto, agambye nti ddereeva bamukutte era nga mu kiseera kino , emmotoka ekuumirwa ku poliisi e Njeru.