Buddo etandise na buwanguzi mu mupiira gw'amasomero mu Algeria

Ttiimu ya Buddo eyakiikirira Uganda mu mupiira ogw'ebigere mu mizannyo gy'amasomero mu Algeria yaguddewo n'abuwanguzi ku mmande oluvannyuma lw'okukuba Tunisia goolo 2-1.

Aba Buddo nga bajaganya oluvannyuma lw'okuteeba Goal
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision
Ttiimu ya Buddo eyakiikirira Uganda mu mupiira ogw'ebigere mu mizannyo gy'amasomero mu Algeria yaguddewo n'abuwanguzi ku mmande oluvannyuma lw'okukuba Tunisia goolo 2-1.
 
Tunisia yeyasoose okulengera akatimba mu dakiika eye 18 nga yabadde ya mutwe ogwava mu kusimula ekoona.
 
Okufuna ekkoona lino kyaddirira omukwasi wa goolo ya Buddo Expedito ssemugera okutaasa peneti eyavaamu ekoona.
 
Nga ekitundu ekyokubiri kyakaddamu omutendesi wa Buddo Richard Malinga yakolamu enkyukalyuka naleeta Babi Abdul Shakur nga ono yakolera kapiteeni wa tiimu Dickson Barasa omukisa ogwavaamu goolo eyekyenkayi mu dakiika eya 53. 
 
Nga wayise eddakiika bbiri Babi yaddamu nasaliza  Owen Mukisa omupiira omwavudde goolo eyokubiri.
Abazannyi ba Buddo oluvannyuma lw'okuteeba ggoolo

Abazannyi ba Buddo oluvannyuma lw'okuteeba ggoolo

 
Olwaleero Buddo ekomyewo okuttunka ne Ivor Coast nga yetaaga akabonero kamu kokka okwesogga oluzannya oluddirira olwakamalirizo.

Buddo ekulembedde ekibinja A nobubonero busatu nga Ivory Coast eri mu kyakubiri nakabonero kamu.  

Biri ebibinja bisatu nga Buli kibinja kivaamu ttiimu emu ekulembera okugenda butereevu ku luzannya oluddirira olwakamalirizo ate tiimu enasinga okukola obulungi mu zimalidde mu kyokubiri ebeegatteko okuweza tiimu nnya.

Mu mizannyo emirala Uganda yafunye omudaali gwekikomo mu mpaka zensero owa 3x3 mu bawala oluvannyuma lwokukuba Benin 21-17.

Omidaali ogwa zaabu gwawanguddwa Rwanda ate Nigeria netwala Feeza.

Mu kuwuga munnayuhanda Rahmah Kalungi yasubiddwa okuwangula omudaali oluvannyuma lwokumalira mu kifo kyakuna mu mutendera gwa 50m Butterfly. Empaka zaawangudfwa omumisiri Malak Elshazly.

Mu Badminton munnayuganda Christine Kadondi yayiseewo ku mutendera oguddako oluvannyuma lwokukuba Lekba Hiba enzaalwa ya Algeria ku bugpba 2-0 (21-10, 21-14).