Basabiddwa okulondoolanga abaana

SSENTEBE wa FDC mu Nakawa, Moses Mugisha Okwera awanjagidde abazadde okulondoolanga abaana baabwe bye bakola ne mikwano gyabwe kibayambe okubatangira okwenyigira mu mize eginaaboonoonera ebiseera byabwe eby’omu maaso.

Sr. Boniconsilli Ngabirano (ku kkono) ng’abuuza ku Sserugo (wakati) ku ddyo ye Mugisha, ssentebe wa FDC mu Nakawa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

SSENTEBE wa FDC mu Nakawa, Moses Mugisha Okwera awanjagidde abazadde okulondoolanga abaana baabwe bye bakola ne mikwano gyabwe kibayambe okubatangira okwenyigira mu mize eginaaboonoonera ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Alaze okutya olw’abazadde abatafaayo kufuula baana mikwano gyabwe ekibaleetera nabo okubakweka ebigenda mu maaso mu bulamu bwabwe ne boonooneka.
Okwera asabye abazadde okuttukiza okulambika abaana nga babalaga ekirungi n’ekibi nga tebeetiiririra lwe bajja okutaasa abaana b’eggwanga.
Yabyogedde yeetabye ku mukolo abayizi ba St. Kizito SS Bugoloobi bwe baabadde boolesa ebitone n’okwenyigira mu mizannyo egiyigiriza abaana empisa n’okwewala emize nga ebiragalalaga, obukaba n’ebirala.
Akulira essomero lino, Sr. Boniconsilli Ngabirano yalaze obukulu bw’abaana okwetaba mu mizannyo n’ategeeza nga bwe gibayambako okwogiwaza obwongo. Yasabye abazadde okukulizanga abaana mu mpisa kuba omuntu alina empisa akolaganika naye.
Jimmy Sserugo okuva mu Rotary Club of Kampala, asiimye abazadde abawagira ebitone by’abaana baabwe n’abasaba okukyettanira kuba basobola okwebeezaawo nga bayita mu bitone.
Ennyumba ya Kiwanuka ye yawangudde empaka nga yamezze Kestens, Comboni ne Lourdel