Batenderezza Museveni olw'okuba omukisa okugenda e Mecca

Ba Imam saako n'abakyala abakulembeze ku mizikiti mu Kampala n'okwetoloola eggwanga batendereza Pulezidenti Museveni olw'okubawa omukisa okugenda okulambula ku nnyumba ya Allah mu kifo ekitukuvu e Mecca .

Batenderezza Museveni olw'okuba omukisa okugenda e Mecca
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Museveni #Mecca

Ba Imam saako n'abakyala abakulembeze ku mizikiti mu Kampala n'okwetoloola eggwanga batendereza Pulezidenti Museveni olw'okubawa omukisa okugenda okulambula ku nnyumba ya Allah mu kifo ekitukuvu e Mecca .

Bano nga bali 50 be bamu kw'abo ku mulundi guno ofiisi ya Pulezident b'etwala ku UMRAH e Mecca nga baakusimbula mu biwayi bya mirundi 2. Kuliko abagenda nga ennaku z'omwezi 5 ne nga 23 omweezi  ogujja ogwa September.

Abamu ku Basiraamu abagenda okutwalibwa ku UMRAH bwe baabadde babangulwa

Abamu ku Basiraamu abagenda okutwalibwa ku UMRAH bwe baabadde babangulwa

Bano baakung'aanidde ku Hotel Africana mu Kampala we baafunidde okubangulwa okusembayo era nga babakalaatidde okwegayirira omutonzi waabwe nga batuuse e Mecca ayongere okubagondeza ku bulamu saako n'okubanywereza mu bukkiriza .

Entanda eno yabasibiriddwa bamaseeka abenjawulo obwedda aboogerako gye bali mu ngeri ey'okubateekateka.

Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z'okukunga abantu Moses Byaruhanga yabasabye nga batuuseeyo basabire eggwanga saako  n'omukulembeze waalyo Gen. Museveni .

Omuwabuzi wa pulezidenti kunsonga z'okukunga abantu Moses Byaruhanga ng'ayogera n'abaamawulire

Omuwabuzi wa pulezidenti kunsonga z'okukunga abantu Moses Byaruhanga ng'ayogera n'abaamawulire

Omumyuka w'omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga ezitali zimu, Mariam Namayanja Kiwanuka yannyonnyode ku bukulu bw'Abasiraamu okugenda ku Umrah n'ensonga lwaki Pulezidenti yasalawo okubawa omukisa guno buli mwaka .

Yannyonnyodde nti emyaka egiyise waliwo abakulembeze b'Abasiraamu abaamutuukirira ne bamusaba okubawa omukisa gw'okutwalibwanga ku Hijja ne ku Umrah e Mecca kibayambeko okwongera okutegeera Obusiraamu era Pulezidenti Museveni bw'atyo kwe kusalawo okwanukula okusaba kwabwe.

Omumyuka w'akulira omuzikiti gwa Mulago Masigidi Noor Katale zone , Sheikh Adam Mugerwa saako n'abakyala abakulembeze mu Busiraamu ku mizikiti egyenjawulo baategeezezza nti omukisa Pulezidenti gw'abawadde munene nnyo kuba bulijjo bayaayaana okutuukako mu kifo ekitukuvu Mecca naye nga tebalina busobozi.