POLIISI ekutte omuyizi w’essomero agambibwa okuwamba bbebi ow’emyaka ebiri n’asaba abazadde obukadde 20, kyokka babadde baakyazinoonya n’amutuga mu bukambwe .
Sadiq Kizito 19, asoma S.4 (erinnya ly’essomero lisirikiddwa ) erisangibwa e Kawanda yawambye omwana Christopher Asoya 2, n’asaba bazadde be bamuwe obukadde bwa ssente 20, bwe zaabalemye n’amutuga oluvannyuma omulambo gwe n’agunyugunya mu mwala gw’amazzi e Bwaise mu Kampala.
Bazadde b’omwana Dorothy Aceduna, ne kitaawe Justine Etaku, bagamba nti omwana waabwe yawambibwa nga July, 16, 2025, ne baggulawo omusango ku Poliisi y’e Katooke ku ffayiro nnamba SD: 19/16/07/25.
Bagamba nti baali bakyasamba ensiko, newabaaawo omuntu akubira muliraanwa waabwe essimu ng’agamba nti yali amanyi omwana waali.
Oluvannyuma kyazuulibwa nti, eyali akubye essimu ye Sadiq Kizito, era nga ennamba kwe yakuba, okugifuna, yasooka kwefuula eyali ayagala okupangisa ennyumba mu kitundu mwe yawambira bbebi.
Ekitongole kya Flying Squad kye kyakutte Kizito, kyokka we baamutuukiddeko ng’agamba nti bbebi yabadde yamala dda okumutta olw’ensonga nti bwe yasaba bazadde be obukadde 20, baamuwaako musanvu gwokka, obusungu ne bumukwata.
Bazadde b’omwana bagamba nti baasooka ne basindikira omutemu obukadde bwa ssente butaano, kyokka n’abakudaalira nti, ezo tekwali zaakuliisa mwana waabwe, era n’abasaba bamusindikire endala asobole okumugulira ekyokulya, kwe kumusindikira ssente endala eziwera obukadde bubiri, omugatte ne ziwera obukadde musanvu.
Eggulo, (ku Lwokubiri nga August, 05, 2025) omutemu yatutte aba Flying Squad ku mwala gw’e Bwaise, mu Divisoni y’e Kawempe n’abalaga we yatugira bbebi n’ekifo weyakanyuga omulambo gwe.
Yabategeezezza nti, yasooka kumwambulamu ngoye n’alyoka amusuula mu mwala.
Poliisi ng’eyambibwaako abavubuka b’oku kitundu, baakebedde mu mwala okumala essaawa eziwerako kyokka omulambo gwa bbebi ne gubabula.
Mu kwewozaako, Kizito yategeezezza nti yabadde anoonya ssente naye asobole okukyuusa ku bulamu bwe.