OMUYIZI omusawo mu ddwaaliro e Luweero, akwatiddwa, olw'ebigambibwa nti aliko omukyala gwe yasabye ssente okusobola okumuzaalisa.
Byabadde Luweero General Hospital mu disitulikiti y’e Luweero, eno omusawo Yanik Balema gye baamukutte n’emitwalo 25 z'agambibwa okuba nti abadde yaakaziggya ku mukyala ono, asobole okumuzaalisa.
Kigambibwa nti abalwadde mu ddwaaliro lino, baludde nga beemulugunya ku basawo ababakanda ssente okubafunira obuujjanjabi n'eddagala ate nga ddwaaliro lya gavumenti.
Omwogezi wa poliisi mu Savan,a Sam Tweanamazima, ategeezezza nti okunoonyereza kugenda mu maaso era n'avumirira ekikolwa kino.