Omusibe akkakkanye ku musibe munne n'amukuba n'amutta, bwe bafunye obutakKaanya mu kkomera.
Omusibe Moses Tuhame abadde ku Musango gw'okusobya ku mwana atanneetuuka, kigambibwa nti akubiddwa musibe munne Anatooli Irumba ali ku musango gw'okutta nnyina.
Bibadde mu kkomera e Masindi mu TB isolation centre bombi gye babadde bakuumirwa.
Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Frank Baine Mayanja, ategeezezza nti omusibe ono, bagezezzaako okumuddusa mu ddwaaliro e Masindi n'afa nga yaakatuusibwayo.
Ayongedde nti polisi etandise okubuuliriza ku ttemu lino era nga baliko be baggyeeko sitaatimenti.