OMUMYUKA asooka owa katikkiro wa Uganda era minisita w’ensonga za East African community Rebecca Alitwaala Kadaga ayambalidde akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Dr.Tanga Odoi gw’alumiriza okudibaga emirimu ng’akolera ku ntoli z’abantu abamu okusuula abalala.
Bino Kadaga yabyogeredde mu nsisinkano n’abakiise ba NRM okuva e Wakiso ku grenkad e Nansana mu kaweefube w’okubasaba obuwagizi ku kifo kya CEC nga Omumyuka owookubiri owa ssentebe wa NRM mu ggwanga.
Minista Kadaga Ng'atuuka e Nansana
Kadaga yategezezza nti Odoi tagwanidde kwenyigira mu kulondesa kalulu kaabwe kuba aliko enziro nga avuddeko emivuyo mu kibiina.
Kadaga yannyonnyodde nti ye mutuufu agwanira ekifo kino kuba abamu ku beegwanyiza ekifo kino bazze banokolwayo okwenyigira mu bikolwa byekko omuli obuli bwenguzi nga tebalina kubeesiga era nga sibakulembeze bulungi.
Abavubuka Ba NRM Mu Wakiso Nga Balaga Obuwagizi Eri Kadaga Ku Kifo Kya Cec
Ate Henry Luzinda omu ku bakulembeeze ba bavubuka mu Wakiso walabulidde nga bwe bagenda okufaafaagana n’omuntu yenna anaayagala okuzannyira mu kalulu ka Kadaga gw’agamba nti yekka y’alina obusobozi.
Abakulembeeze ab’enjawulo okuva ku biwayi okuli abakadde, abaliko obulemu, abakyala n’abalala beeyamye okunyweza obuwagizi eri kadaga gwe bagamba nti ayimiriddewo ne pulezidenti museveni.