ABANTU obukadde Mwenda mu emitwala kkumi, be bakawandiisibwa okufuna endagamuntu mu bbanga eryemyezi esatu.
Ku bano, abaana mu masomero bali 800,000/ abakawandiikibwa okuweebwa NIN numbers mu kaweefube NIRA gw'eriko okuzza obujja endagamuntu .
Registrar akulira eby'endagamuntu mu kitongole kino, Clarie Ollama, alaze obwennyamivu eri abo abatunda foomu zino, n'abo abagulira okuyingira mu nnyiriri babakoleko mu bwangu n'agamba nti kino , kimenya mateeka.