Pulezidenti Museveni aggyeeyo empapula okuddamu okuvuganya ku bwa Pulezidenti

EKIBIINA kya NRM kiggyiddeyo Pulezidenti Museveni empapula z’okunoonya emikono mu kakiiko k’eby’okulonda okuddamu okuvuganya ku bwa pulezidenti omulundi ogw’omusanvu.

Al-Hajji Moses Kigongo ne ssabawandiisi wa NRM nga baggyayo empapula za Pulezidenti Museveni
By Nsimbi Ponsiano
Journalists @New Vision
EKIBIINA kya NRM kiggyiddeyo Pulezidenti Museveni empapula z’okunoonya emikono mu kakiiko k’eby’okulonda okuddamu okuvuganya ku bwa pulezidenti omulundi ogw’omusanvu.
Empapula zino zaggyiddwayo omumyuka asooka wa ssentebe wa NRM , Al-Hajji Moses Kigongo ne ssabawandisi w’ekibiina Richard Todwong nga zabakwasiddwa omukungu wakakiiko k’eby’okulonda Samuel Kiyingi.
Museveni yegasse ku bantu  abasoba mu 100 okuli n'omweyaka 20, abamaze edda okuggyayo empapula okunoonya emikono okuvuganya ku bwa pulezidenti ng’enteekateeka eno yakukomekerezebwa nga August 23, omwaka guno.
Todwong ategeezezza nti obukulembeze bwe NRM obulungi bwe busoboozesezza Bannayuganda abangi okwesowolayo okulaga obwagaazi bw’okuvuganya ku kifo ky’obwa Pulezidenti awatali ku bakugira.
Kyokka yalabudde bannakibiina kya NRM nga wewatali mulala yenna akkirizibwa kuvuganya ku kifo ky’obwa pulezineti ku kkaadi ye NRM kubanga ekibiina
Musevi yaggya mu buyinza mu 1986, yasooka okwesimbawo 1996,2001,2006,2011,2016 ne 2021 era nga gyonna azze awangula.
Abalala abagyeye empapula eggulo kw’abaddeko ssabawandisi w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Nathan Nandala Mafabi ng’ono ekibiin gwe kyalonda okukikwatira bendera ku pulezidenti ng’epapula zamuggyiddwayo omuyambi we Jonathan Ebwaru.
Ye Mubarak Munyagwa ow’ekisinde kya Common man’s Party yaweerekeddwako Moses Bigirwa n’abalala ng’ono yakukulumidde akakiiko k’eby’okulonda olw’okubagaana okuyingiza mmotoka zaabwe n’ebakkirizaako ezza be NRM bokka.
Munyagwa yagambye nti singa anaba alondeddwa ku bwa pulezidenti wakutandikira ku nsonga ya byabulamu n’ebyenjigiriza byagamba nti bidobonkanye nnyo.
Omwogezi wakakiiko k’ebyokulonda Julius Mucunguzi yakubirizza Bannayuganda mu bitundu by’Eggwanga byonna okukolegana obulungi n’abanoonya emikono kubanga kye bakola kiri mu mateeka era nakubirizza abavubuka bonna abaggyeyo empapula okugoberera amateeka n’okukuuma emirembe.
Amateeka geby’okulonda gakkiriza buli munnayuganda aweza emyaka 18 okuvuganya ku kifo kyonna.
Ebisanyizo ebirala abavuganya bye balina okubeera nabyo kuliko obuyigirize obutaka wansi wa S.6, emikono 100 egy’abalonzi abamusemba okuva mu buli disitulikiti nga zino terina kuka wansi wa 98 ku 146, bye bitundu 2/3, abagala okuvuganyiza mu bibiina ebyawandisibwa mu mateeka balina okubeera ne bbaluwa okuva ewaba ssabawandiisi b’ebiina byabwe.