ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe kya Pacific Shopping Arcade ku William Street mu Kampala bali mu maziga oluvannyuma lw’omuliro okukwata ekizimbe kino emmaali yaabwe n’etokomoka.
Omuliro guno ogwakutte mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu era gwasattizza n’abaabadde mu wooteeri eriraanye ekizimbe kino nga balowooza nti gugenda kutuuka mu bisenge mwe babadde era abasinga baavuddeyo ne badduka ekibabu.
Mu ngeri y’emu ne baddereeva ba loole ezitikka ebyamaguzi ezisimba okumpi n’ekizimbe kino baayanguye okuziggyawo omuliro guleme kuzituukako.
Omu ku bakuumi b’ekizimbe kino, Asuman Dauda yagambye nti zaabadde ssaawa 8:00 ez’ekiro n’alaba omukka nga guva mu dduuka erimu kwe kuggyako amasannyalaze, wabula yagenze okulaba ng’omuliro gutandika okubumbujja, ne gukwata amaduuka amalala.
Yakubidde poliisi eyayanguye okutuuka n’erwanagana nagwo okulaba nga tegwongera kusaasaana.
Abasuubuzi abasinga amawulire g’ekizimbe okukwata omuliro gaabasanze mu maka gaabwe era badduse bukubirire okusobola okutaasa emmaali yaabwe.
Roger Kalema omu ku bakolera ku kizimbe kino yagambye nti omuliro gwasinze kukosa amaduuka ku myaliro esatu ng’abasuubuzi abaasinze okukosebwa batunda ngatto ssaako ne sitoowa z’abasuubuzi ababadde baakatikkula emmaali nga bagitereseeyo.
Ssentebe w’abasuubuzi abakolera ku kizimbe kino, Saad Ssendiwala yagambye nti tebannamanya muliro kwe gwavudde .
Yagambye nti okusoomoozebwa kwe boolekedde kuba abamu babadde baakeewola ssente , abalala babadde baakasuubula n’okusasula ssente z’obupangisa nga kati omuliro gubakomezza tebamanyi kyakuzzaako.
Poliisi ezikiza omuliro yatutte ebimotoka n’ezikisa omuliro okumala akaseera n’ereka nga guzikidde, oluvannyuma ne baggala ekizimbe kino okusobola okunoonyereza omuliro kwe gwavudde.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire yagambye nti omuliro gwatandise ku ssaawa 8:00 ez’ekiro era nga gwakozessa emyaliro esatu nga gwasinze kukosa edduuka ly’omusuubuzi amanyiddwa nga Chep ebintu bye byonna ebyabaddemu ne basirikka.
Yagambye nti poliisi yatuuse mu budde n’ezikiza omuliro guno n’egutangira okusaasaana