ABASUUBUZI mu kibuga Mityana baakeeredde mu maziga ku Lwokubiri, omuliro bwe gwakutte bizinensi zaabwe ne zibengeya ebintu ebibalirwamu obukadde bw’ensimbi ne bitokomoka.
Omuliro ogwatandise ku ssaawa 5:00 ez’ekiro, gwayokkezza ebintu by’abasuubuzi e Buswabulongo ku luguudo lwa Highway oludda e Mubende mu Munisipaali y’e Mityana.
Ebyayonooneddwa kwabaddeko ebibanda by’embaawo, amabajjiro amanene, n’amaduuka. Abamu ku babadde ne bizinensi mu kifo kino okuli Justus Muwereza Bwambale, baategeezezza ni omuliro baagulabye gwakatandika naye baalemereddwa okuguzikiza kubanga gwabadde gwa maanyi nnyo era poliisi we yatuukidde nga buli kimu kisaanyeewo.
Kigambibwa nti mmotoka ya poliisi ezikiza omuliro ey’e Mityana yayonooneka ngabaatumizza y’e Kampala, eyatuuse nga buyise.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Region, Racheal Kawala yagambye nti tebannakakasa kyavuddeko muliro guno kyokka banoonyereza.
Kawala yasabye abatuuze, nti bwe bafunanga obuzibu nga buno, bategeeze poliisi nga bukyali