Mubarrak Munyagwa aggyeyo empapula z'okuvuganya ku kifo kya Pulezidenti wa Uganda

Mubarak Munyagwa  ow’ekisinde kya Common man’s Party naye aggyeeyo empapula ng'awerekeddwaako Moses Bigirwa n’abalala ng’ono yakukulumidde akakiiko k’eby’okulonda olw’okubagaana okuyingiza mmotoka zaabwe n’ebakkirizaako ezza be NRM bokka.

Mubarrak Munyagwa ng'ali ku kitebe kya kakiiko k'ebyokulonda
By Nsimbi Ponsiano
Journalists @New Vision
Mubarak Munyagwa  ow’ekisinde kya Common man’s Party naye aggyeeyo empapula ng'awerekeddwaako Moses Bigirwa n’abalala ng’ono yakukulumidde akakiiko k’eby’okulonda olw’okubagaana okuyingiza mmotoka zaabwe n’ebakkirizaako ezza be NRM bokka.
Munyagwa yagambye nti singa anaba alondeddwa ku bwa pulezidenti wakutandikira ku nsonga ya byabulamu n’ebyenjigiriza byagamba nti bidobonkanye nnyo.
Omwogezi wakakiiko k’ebyokulonda Julius Mucunguzi yakubirizza Bannayuganda mu bitundu by’Eggwanga byonna okukolegana obulungi n’abanoonya emikono kubanga kye bakola kiri mu mateeka era nakubiriza abavubuka bonna abaggyeyo empapula okugoberera amateeka n’okukuuma emirembe.
Amateeka geby’okulonda gakkiriza buli munnayuganda aweza emyaka 18 okuvuganya ku kifo kyonna.
Ebisanyizo ebirala abavuganya bye balina okubeera nabyo kuliko obuyigirize obutaka wansi wa S.6, emikono 100 egy’abalonzi abamusemba okuva mu buli disitulikiti nga zino terina kuka wansi wa 98 ku 146, bye bitundu 2/3, abagala okuvuganyiza mu bibiina ebyawandisibwa mu mateeka balina okubeera ne bbaluwa okuva ewaba ssabawandiisi b’ebiina byabwe.