Kkaadi ya NUP: Malende ne Luyirika batuuse n'okwawulamu abanene mu NUP

Embiranye eri wakati w’omubaka Shamim Malende (mukazi/Kampala) ne sipiika wa KCCA, Zahara Luyirika ku ky’omubaka omukazi owa Kampala etuuse n’okwawulamu abanene mu NUP.

Kkaadi ya NUP: Malende ne Luyirika batuuse n'okwawulamu abanene mu NUP
By Kizito Musoke
Journalists @New Vision
#Amawulire #KCCA #Kkaadi #NUP #Malende #Luyirika

Embiranye eri wakati w’omubaka Shamim Malende (mukazi/Kampala) ne sipiika wa KCCA, Zahara Luyirika ku ky’omubaka omukazi owa Kampala etuuse n’okwawulamu abanene mu NUP.

Luyirika Owa Kcca

Luyirika Owa Kcca

Ebiseera bino kizibu okusanga omukolo oguliko Malende nga Luyirika taguliiko era omukolo gw’Amatikkira ga Kabaka ogwali e Kibuli gye buvuddeko ababiri baalabwa nga beekulubeeseza ku Bobi Wine. 

 

Ku kkooti e Masaka mu kuwulira omusango gwa Eddie Mutwe n’abakuumi ba Bobi Wine, bannamawulire bakyatenda ababiri bwe beeteze kkamera.

 

Ebigambo by’abamu ku banene ba NUP biraga bwe bawagira Malende okuli; omumyuka wa Pulezidenti Lina Zedriga, Betty Nambooze (mukono/Munisipaali) ne Barbie Kyagulanyi n’abalala. Kigambibwa nti amaanyi ga Luyirika gamuli mu ssaabawandiisi w’ekibiina, Lewis Rubongoya.

Malende

Malende

Waliwo omukulembeze wa NUP (amannya gasirikiddwa) eyagambye nti teyandiyagadde kufiirwa Malende ne Luyirika. “Bombi tusobola okubasigaza ng’omu tumutwala ku kifo ekirala. 

 

Luyirika bw’aba tazze, asobola okudda ku bwakkansala ne tumuwagira ku Bwasipiika oba obwameeya bw’e Makindye. Kyokka Malende siraba w’oyinza kumusindika walala,” bwe yategeezezza.

 

Ensonda zaategeezezza nti kkaadi okusooka kyali kisaliddwaawo abakulu eweebwe Luyirika nga beesigama ku bulwadde bwa Malende. Kyokka okuva lwe yakomyewo, byakyuseemu era bombi tebakyava mu bantu.