Abadde alanga eddagala ly'omutima mu bukyamu akwatiddwa e Wandegeya

Poliisi e Wandegeya ng'eri n'ab’ekitongole kya National Drug Authority, ekutte omusajja n'ezuula n'eddagala ekyamu eribadde lirangibwa ku katale mu bukyamu.

Abadde alanga eddagala ly'omutima mu bukyamu akwatiddwa e Wandegeya
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #National Drug #Wandegeya #Ddagala #Bukyamu

Poliisi e Wandegeya ng'eri n'ab’ekitongole kya National Drug Authority, ekutte omusajja n'ezuula n'eddagala ekyamu eribadde lirangibwa ku katale mu bukyamu.

Nicholas Ogwang y'akwatiddwa ne bazuula n'eddagala lya "Hyper guard " e Nakasero mu Kampala eribadde ligambibwa nti liwonya obulwadde bw'omutima.

Eddagala eribadde lirangibwa.

Eddagala eribadde lirangibwa.

Okumukwata, kyaddiridde ka vidiyo okusaasaanira emitimbagano ng'oli yeeyita Dr. Emmy Okello owa Uganda Heart Institute ng'alanga eddagala lino " Hyper Guard."

Oluvannyuma Dr. Okello yennyini yagguddewo okwemulugunya eri poliisi nga yeegaana okubaako ky'amanyi ku vidiyo eyo era kwe kukola omuyiggo ne bakwata Ogwanga.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti basobodde n'okuzuula bookisi z'eddagala lino 2,000 n'eddagala eddala ery’amakerenda erya Main power eriwerako.

Alabudde abantu okwewala okugula eddagala mu bifo ebitakkirizibwa nti kuba liba lyabulabe.