POLIISI e Mbale , etubidde n'omuwala eyaakava mu ggwanga lya Saudi Arabia naye ng'agambibwa okubaako ekikyamu ku mutwe.
Hamida Ndagire 34, y'akuumirwa mu kifo kino, oluvannyuma lw'okutwalibwayo naye nga by'ayogera tebikwatagana nga kiraga nti y'alibaako obuzibu ku bwongo.
Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, ategeezezza nti y'aliba ng'azaalibwa Busoga oba mu Buganda era nga bamukuumira ku poliisi e Mbale , n'asaba abantu abayinza okuba nga bamumanyi, okutuukirira poliisi e Mbale.