OLUVANNYUMA lw’akakiiko ka NRM akavunaanyizibwa ku kunoonyereza ku mivuyo egyakolebwa mu kamyufu okugoba okwemulugunya kw’omubaka w’e Lwemiyaga Theodare Ssekikubo, Brig.Gen. Emmanuel Rwashande amusabye okwesonyiwa eby’okwesimbawo yeetondere abantu abamulinako obukyayi.
Gen. Rwashande Ng'ayogera.
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Gen. Rwashade agambye abantu bangi babadde mu bulumi emyaka 25 Ssekikubo gy’abafugidde nga buno obwenkanya obukoleddwa akakiiko buwewudde bangi emitima.
Rwashade era asabye Ssekikubo obuteetantala kwesimbawo kubanga okusalawo kw’abantu kumaze okussibwamu ekitiibwa nga bw’aneyongerayo okuwaabira mu kkooti ajja kuba amala ga mu bulago.
Ssekikubo eyawanguddwa.
Yeetondere abantu be yabbira ettaka n’abo abaafiirwa abaabwe mu mikono gye bamusonyiwe olwo adde ku kyalo akole ebirala.” Rwashande bwe yategeezezza.