AMALWALIRO agali mu masoso g’ebyalo n’abantu abali mu nkambi z’ababundabunda bakubiddwa enkata bwe batandise okuweebwa amasannyalaze agakoleddwa mu nnakavundira.
Kino, kikoleddwa okukendeeza ku muwendo gw’abantu abafa n’eddagala okwonooneka olw’ebbula ly’amasannyalaze naddala mu bintu ebizibu okutuukamu.
Omukugu Wa Kkampuni Ya Bsul Ng'alaga Bwe Batambuza Amasannyalaze Agakolebwa Mu Biogas.
Amasannyalaze gano, gakolebwa kkampuni ya Biogas Solution Uganda Limited (BSUL) era Alfred Muhangi, avunaanyizbwa ku mutindo yagambye nti bagakola mu kasasiro, kalimbwe w’enkoko n’obubi bw’abantu e Kakiri ne bapakira omukka mu ‘sirinda’ ze batwala mu byalo.
Yannyonnyodde nti omukka guno gwe batwala mu malwaliro ne mu nkambi z’ababundabunda ne bagufuula amasannyalaze nga beeyambisa ekyuma ekiyitibwa ‘genset’ nga kino kyefaananyirizaako ‘jenereetar’ ekozesa amafuta.
Enteekateeka eno, Michael Muvule Pinto, ddayirekita w’ebikolebwa mu Biogas yagambye nti yatandikidde mu malwaliro okuli Yinga Health Center III, enkambi y’ababundabunda ey’e Imvepi mu distulikiti y’e Terego, awali abantu 26,000, eddwaliro lya Rhino Camp Health Center IV, mu nkambi ya Rhino Camp Refugee Settlement, mu distulikiti y’e Madi-Okollo omuli abantu 18,000 n’eddwaliro lya Odupi Health Center III, mu distulikiti y’e Terego.
Muvule yagambye nti baakafuna amalwaliro 84 agaasaba okuyungibwa ku masannylaze mu nteekateeka eno eyatuumiddwa ‘Sustainable Energy for All’ wabula okusaba kwa malwaliro asatu kwe kwakayitamu.
Omukugu Wa Kkampuni Ya Bsul Ng'alaga Generator Gye Bakozesa Okukola Amasannyalaze Okuva Mu Biogas (1)
Yannyonnyodde nti baakwataganidde wamu n’ekitongole kya Powering Healthcare Innovation Fund ne mikwano gyabwe abagabirizi b’obuyambi aba Transforming Energy Access (TEA) okuva e Bungereza okukwatirako amalwaliro agali mu mbeera embi naddala ku nsonga z’amasannyalaze era amalwaliro asatu gaafunye amasannyalaze agabalirirwamu obukadde 300.
Muvule yagambye nti enteekateeka eno yatandika mu September 2024 era omutendera ogusooka, gugenda kukomekkerezebwa omwezi ogujja ate batandike omutendera omulala ogw’okuyamba ebitundu ebirala.
Annyonnyola nti, balina enteekateeka okuzimba ekkolero ly’amasannyalaze gano mu nkambi y’e Imvepi era essaawa eno, bali mu kusomesa abasawo n’abantu b’ebitundu gye baamaze okugaba amasannyalaze ku nkozesa yaago.
Agattako nti baagala okufuna ne bu mmita obusobola okugabala abantu basobole okuba nga bamanyi obungi bwe bakozesa n’engeri y’okugakendeeza.
Omukugu mu by’amasannyalaze mu nteekateeka eno era akulira Powering Healthcare Innovation Fund, Charlie Knight, yagambye nti kino kiwadde essuubi ku kumalawo ebbula ly’amasannyalaze mu malwaliro ne mu nkambi z’ababundaabunda.
“Kino kyakulabirako kirungi eri abayiiya ba nnansangwa ssaako enkolagana n’ebitongole ebigaba obuyambi mu nsi yonna okumalawo ebbula ly’amasannyalaze mu malwaliro n’ebifo by’obujjanjabi.” Charlie Knight bwe yagambye.
Omutendera oguddako baagambye nti buli ddwaliro lya kuweebwa ddoola emitwalo 8 mu za wano bwe bukadde 290.