Emirambo gy'abantu abalala 2 abagambibwa okufiira mu mataba e Bulambuli gizuuliddwa poliisi

POLIISI ezudde emirambo gy'abantu abalala babiri , abagambibwa okufiira  mu mataba e Bulambuli.

Emirambo gy'abantu abalala 2 abagambibwa okufiira mu mataba e Bulambuli gizuuliddwa poliisi
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Poliisi #Mirambo

POLIISI ezudde emirambo gy'abantu abalala babiri , abagambibwa okufiira  mu mataba e Bulambuli.

Mu kiseera kino, omuwendo gw'abantu abaafiridde mu mataba gano agasazeeko ekitundu e Mbale ku Mmande, baweze bataano.

Emirambo ebiri gizuuliddwa mu kitoogo kya Bukhalu e Bulambuli  era ne gitwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro, okugyekebejja.

Abaasoose okuttibwa amataba, kuliko Shadrack Mudulo 50 n'omwana we Vivian Nagudi 12 ng'abadde asoma mu kibiina kya Musanvu. Amataba gaabasanze mu nnyumba mu Nabweya ward mu Mbale Northern City Division.

Ye Edrisa Nakisa yafiiridde Nalugugu e Sironko nga kuno kw'ogasse n'emirambo ebiri, egizuuliddwa leero.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika agambye nti bakyagenda mu maaso n'okunoonya okuzuula oba nga waliyo n'abalala, abaafudde.