America ekoze ddiiru ne Uganda okuyiwa wano abagwira Trump b’afuumudde

AMERICA ekoze ddiiru ne Uganda okuyiwa wano abagwira abatamanyiddwaako nsi gye baava nga bagendayo okukuba kyeyo.

America ekoze ddiiru ne Uganda okuyiwa wano abagwira Trump b’afuumudde
By Basasi ba Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Trump #Amerika

AMERICA ekoze ddiiru ne Uganda okuyiwa wano abagwira abatamanyiddwaako nsi gye baava nga bagendayo okukuba kyeyo.

 

Ddiiru eno erimu n’ensi ya Honduras nayo America gy’ekutudde nayo ddiiru okuyigiwamu abagwira abaava mu nsi za Latin America. 

 

Emikutu gy’amawulire okuli; BBC ne CBS gyategeezezza nti Uganda yakkirizza okubudamya abagenda mu America okusaba obubudamo kyokka balina kuba nga baali baava mu Africa oba Asia. 

 

Wabula minisita omubeezi ow’ensonga ez’ebweru Henry Okello Oryem yagambye omukutu gw’amawulire ogwa reuters nti eyo ddiiru talina ky’agimanyiiko. 

 

Kyokka amawulire ga BBC ne CBS gaalaze nti mu ddiiru America gye yakoze ne Uganda ne Honduras, abagwira abaasangibwa ku nsalo ya Mexico ne America nga baali bagezaako kwesogga America nga bayita mu Mexico. 

 

Obwo bwe butuuze oba obubudamo obuweebwa omuntu akakasizza nti mu nsi ye gy’ava ayiggibwa olw’ensonga ez’enjawulo.

 

Mu nsonga ezo musobola okubaamu ezikwatagana n’ebyeddiini nga gy’osinzizaamu tekkirizibwa mu nsi yo, ez’ebyobufuzi, ez’ekikula ky’abantu n’ebirala. Omuwendo gw’abantu abagenda okuweebwa Uganda tegwayasanguziddwa. 

 

Eky’okuyoola abantu okubazza ewaabwe oba okubaggya mu America kimu ku bintu Pulezidendi w’eggwanga eryo, Donald Trump bye yasuubiza okugoba abagwira abatalina mpapula mu nsi ye. Uganda yakkirizza okutwala abo bokka abatalina likodi ya misango. 

 

Gavumenti ya Trump ezze etegeeragana n’amawanga ag’enjawulo okutwala abanoonyi b’obubudamo nga ne Rwanda yakkirizza okutwalako 250. Panama ne Costa Rica nago gakkiriza okutwala abagwira abava mu Africa ne Asia. 


Essaawa eno Trump akyaperereza Ecuador ne Spain okukkiriza abantu baayo abali mu America nga tebalina biboogerako, baddeyo.

 

Bangi ku balwanirizi b’eddembe n’abamu ku balamuzi okuli Justices Sonia Sotomayor, Elena Kagan ne Ketanji Brown Jackson mu America bawakanya ekya Gavumenti okuzza abantu gye baava awatali kuwuwuliriza byabagyayo. 


Trump ne Gavumenti ye baagenda mu kkooti ne basaba n’ebawa olukusa okubazza ewaabwe, bwe kigaana babeereko ensi yonna gye babatwala.