ABADDE omuwagizi wa NUP, Esther Alexandria Marinos aziikiddwa mu kyalo Busagazi e Kasese wakati mu kwemulunya ku ngeri gye yafuddemu.
Marinos,38, yafudde alumiriza abamu ku b’ebyokwerinda abaamukwata mu 2022 mu bitundu by’e Kinnawattaka mu munisipaali y’e Nakawa ne bamutulugunya.
Gye buvuddeko Marinos yategeeza bwe yatulugunyizibwa ng’ali mu kaduukulu ekyamuviirako obulwadde, nti wabula bwe yabyogerako ne batandika okumutiisatiisa.
Yaddukira e Kenya mu nkambi y’ababundabunda ng’eno aba NUP gye baamuggye ng’embeera ye mbi n’atwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya gye yafiiridde.
Mu kuziika, akulira NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yategeezezza nti, kyannaku okuba nga buli lw’agenda mu kitundu abeera agenze mu mukolo gya nnaku nga waliwo omuntu afudde olw'okutulugunyizibwa olw’endowooza ye.
Kyagulanyi era yeeyamye okufuba okulaba nga balabirira abaana ba Marinos n’okumalayo ettaka ly’abadde asasula mu kibanjampola era nga we yaziikiddwa.
Maama wa Marinos, Mariam Marinos yeebazizza aba NUP olw’obutabasuulirira.
Omugenzi yalese abaana babiri abalongo be yalese e Kenya mu kitongole ekimu ekirabirira abaana, nti era yasabye ab’ekibiina kya NUP okubanoonyaayo baleme kuzaawa.