Kkooti eragidde Gavt. okuggya envumbo ku akawunti za Dr. Ssemugenyi n'amwenya!

KKOOTI eragidde envumbo zonna ezassibwa ku akawunti za Dr Dennis Daniel  Ssemugenyi eyali aweerera abaana abasoba mu 1000 abatalina mwasirizi zisumululwe.

Kkooti eragidde Gavt. okuggya envumbo ku akawunti za Dr. Ssemugenyi n'amwenya!
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Dr. Ssemugenyi

KKOOTI eragidde envumbo zonna ezassibwa ku akawunti za Dr Dennis Daniel  Ssemugenyi eyali aweerera abaana abasoba mu 1000 abatalina mwasirizi zisumululwe.

Mu kiragiro ekyafulumiziddwa omulamuzi Isaac Muwata kyamenyewo n’ekiragiro kya kkooti ekyayisibwa omulamuzi mu kkooti ya Buganda Road ekyavaako envumbo za akawunta okukolebwa.

Dr. Ssemugenyi yali ayamba abaana abasoba mu 1,000 okubaweerera kyokka Gavumenti n’emuggulako emisango nti yeenyigira mu kussa ssente mu bikolwa ebimenya amateeka ate n’engeri gye yazifunamu si nnambulukufu.

Dr Dennis

Dr Dennis

Giweze emyezi 10 nga Dr. Ssemugenyi takkirizibwa kuggyayo ssente ku akawunti ye esangibwa mu bbanka ya DFCU , bambega ba Gavumenti baginonyerezaako ku bigambibwa nti yagendako ssente eziva ebweru w’eggwanga mu makubo amakyamu.

Kino kyatabula Dr. Ssemugenyi ne kkampuni ye eya Daniel Dennis Investment Group Ltd ne baggula omusango ku Gavumenti nga beemulugunya okumunyigiriza ne bamuggulako emisango n’ekigendererwa ekyokusiba akawunti ze ate nga yali ayamba baana ba ggwanga.

Omusango gwasaliddwa omulamuzi Isaac Muwata ku Lwokutaano nga August 21 2025 nga Dr. Daniel Ssemugenyi aguwangudde kkooti n’eragira envumbo zonna ezibadde ku akawunti ze okumala emyezi 10 ziggyibwewo ate n’omusango Gavumenti gwe yasinziira okussa envumbo ezo omulamuzi n'aguggyawo.

Munnamateeka wa Dr. Ssemugenyi ayitibwa Annet Ikwera ne Dr. Ssemugenyi baasanyukidde ensalawo ya kkooti nti omulamuzi Muwata  yagoberedde amazima.

Emyezi 10 nga Dr. Ssemugenyi yeenyoola n’abakungu ba Gavumenti, takkirizibwa kukuba lukung'aana lwonna era lwe yali ayise ku kisaawe e Kazo poliisi yalugaana.

Dr Dennis ng'engule eyamuweebwa

Dr Dennis ng'engule eyamuweebwa

Ssemugenyi yagambye nti okuwangula omusango kumuwadde amaanyi nti n’omusango gw’etteeka lya UPDF gwe yaggulawo ng’asaba kkooti eyimirize ennongoosereza ezaayisibwa Palamenti agenda kugussaamu amaanyi.

“Ng'enda kwongera okussa amaanyi  ku kubunyisa enkola y'okusimba emiti nga mpita mu kibiina kyange ekya Every Birthday Tree Day Initiative [ABTDI] ekiyamba buli akuza olunaku lw'amazaalibwa ge asimbireko emiti egyenkana n’emyaka gy'awezezza kubanga n’ebyokuvuganya ku bwapulezidenti nabivuddeko,” Ssemugenyi bwe yagambye.