OMUNTU omu afiiridde mu Kabenje akaguddewo mu kiro ekikeesezza leero e Kalule ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu Lukululana bw'eremeredde omugoba waayo bw'etyo n'egwa wansi mu luwonko okukkakkana nga omuntu agibaddeko emugwiridde n'afa.
Lukululana eno nnamba UBH 101 Q ekika kya SANY nga eno ebadde eva Nakasongola nga edda Kampala kyokka bwetuuse wano e Kalule neremerera omugoba waayo okukakkana nga egudde wansi mu luwoonko.
Akabenje kano kagguddewo mu ekikeseezza olw'okutaano nga abatuuze abakedde okugenda okukola bebasanze emmotoka eno muluwoonko kyokka tebasoose kutegeera nti mufiriddemu omuntu okutuuka abamu bwebagyituseeko okwetegerezza nga waliwo omuntu gwenyigidde mu mipiira gyaayo.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Simon Agaba bagambye nti kyandiba nga omugenzi yabadde agezaako okuva ku mmotoka oluvanyuma ly'okugyilaba nga egwa wansi wabula gyeyabadde agezaako okuddukira ate gyeyamunyigidde bwato nafirawo.
Poliisi ezze n'eggyawo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Luwero nga n'emmotoka etwaliddwa ku poliisi y'e Luwero okwongera okunoonyerezza.