Mupiira Final (Balenzi)
Bukedea 2-1 Musingu Boys (KE)
Bawala Final
St. Noa Girls 1-0 Kawempe Muslim
Ensero 5x5 Final (Bawala)
St. Noa Girls 68-41 Kitende
Bawala Final
ITS Kigali (RWA) 74-64 Amus College
Emidaali
G S B
Uganda 15 13 11
Kenya 13 16 13
Rwanda 2 1 1
Tanzania 0 0 3
Burundi 0 0 2
I. Coast 0 0 0
UGANDA ezzeemu okwetikka empaka z'amassomero ga siniya eza FEASSA ezibadde ziyindira mu kibuga kye Kakamega e Kenya.
Empaka zaakomekkerezeddwa ku lw'okutaano nga Uganda ezzeetisse oluvannyuma lwokuwangula emidaali 39 omugatte nga kuno kuliko egya zaabu 15, egya feeza 13 negyekikomo 11.

Abazannyiba Uganda ng balina emidaali gyabwe
Abategesi aba Kenya baakutte kyakubiri nemidaali 42, Rwanda kyakusatu nemidaali etaano, Tanzania mu kyokuna nemidaali 3 ate Burundi nemalira mu kyakutaano nemidaali ebiri. Abagenyi aba Ivory Coast bazzeeyo ngalo nsa nga tebaawanguddeyo mudaali gwonna.
Kenya yeetisse egya primary nga yawangudde omugatte emidaali 13 okuli egya zaabu mukaaga, egya feeza ebiri negyekikomo etaano. Yaddiriddwa Uganda mu kyokubiri nemidaali ena okwabadde ogwa zaabu gumu, egya feeza ebiri nogwekikomo gumu.
Mu mizannyo egyagaddewo Uganda yeetisse ekikopo kyomupiira omulundi ogwomusanvu ogwomuddiringanwa oluvannyuma lwa Bukedea Comprehensive okukuba abategesi aba Musingu Boys ku luzannya olwakamalirizo.

Abazannyi ba Uganda bawanise ekikopo
Uganda era yeddiza ekyomupiira ogwebigere mu Bawala oluvannyuma lwa St. Noa Girls okukuba Kawempe Muslim ku final. St. Noa Girls yeetisse Olunaku bweyakubye Kitende ensero 68-41 mu luzannya olwakamalirizo olwensero eya 5x5 mu Bawala.
Guno gwabadde mulundi gwakutaano ogwomuddiringanwa nga Uganda ewangula empaka zamassomero FEASSA okuviira ddala mu mwaka gwa 2019.
Wabula empaka zomwaka guno zaabutiikiddwa emivuyo okuva mu bawagizi bannakenya abaayiye emizannyo egiwerako nga tebaagala Uganda kubawangula. Tanzania yalondeddwa okutegeka empaka zomwaka ogujja