Fr Bwangatto ajaguzza emyaka 25 mu busaseredooti

Omukwanaganya w’emirimo gya Klezia mu ssaza ekkulu ery’e Kampala ate era nga musomesa mu Seminario Enkulu ey’Omutuukirivu Mbaaga e Ggaba, Fr. Dr. Ambrose Bwangatto ajaguzza emyaka 25 mu Busaserdooti. Paapa Leo XIV asiimye obuweeza bwe obulungi era n’amuweereza omukisa gwe owg’Obutume.

Fr Bwangatto nga bamukwasizza ekirabo ky'ekifaananyi kye
By Mathias Mazinga
Journalists @New Vision

Omukwanaganya w’emirimo gya Klezia mu ssaza ekkulu ery’e Kampala ate era nga musomesa mu Seminario Enkulu ey’Omutuukirivu Mbaaga e Ggaba, Fr. Dr. Ambrose Bwangatto ajaguzza emyaka 25 mu Busaserdooti. Paapa Leo XIV asiimye obuweeza bwe obulungi era n’amuweereza omukisa gwe owg’Obutume.

Fr Bwangatto nga bamuwa engule

Fr Bwangatto nga bamuwa engule

Omukisa guno Faaza Bwangato gw’amukwasiddwa Omubaka wa Paapa, Ssabasumba Augustine Kasujja, ku mukolo ogw’okwebaza ogw’abadde mu Seminario e Ggaba ku Lwokutaano nga August 22, 2025.

Obuweereza obulungi obwa Faaza Bwangatto era bw’asiimiddwa nnyo Abepiskoopi nga Ssabasumba Paulo Ssemogerere,  Kalidinaali Emmanuel Wamala, Bishop Serverus Jjumba, ow’e Masaka,  ne Ssabasumba Augustine Kasujja. Katikkiro Charles Peter Mayiga, ne Ssabakristu w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Muky.  Emily Kitto Mwaka nabo baawadde obubaka obusiima Fr. Dr. Bwangatto.

Faaza Bwangatto y’eebazizza nnyo Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala eyamuwa Obusaserdooti, n’Abepiskoopi abaamuddira mu bigere, olw’okumwagala, okumuwagira, okumulabirira, n’okumusabira. Yeebazizza ne bagandabe Abasaserdooti, Bannaddiini, aba famire ye, n’Abakristu b’akoleramu, olwobuwagizi n’essaala.

Y’asubizza okwongera okuweereza Katonda n’abantu be.awatali kwesaasira.