Abaasiimattuka obutujju bakoze ekibiina

BBOMU yantwala mu ggwanika e Mulago okumala essaawa 15 kuba baali bakakasizza nti nfudde! Nga batwala emirambo, we baakizuulira nti kyalimu akalamu ate ne banzirusa mu kasenge k’abayi.

Nga batongaz ekibiinaza
By Ssuuna Peter
Journalists @New Vision

BBOMU yantwala mu ggwanika e Mulago okumala essaawa 15 kuba baali bakakasizza nti nfudde! Nga batwala emirambo, we baakizuulira nti kyalimu akalamu ate ne banzirusa mu kasenge k’abayi.

Ab’enganda zange bajja ku ggwanika nga banoonya mulambo gwange kuba okuviira ddala ku lunaku olwasooka baali bambise nti nafudde. Eno gye banzirusa nagwa ku musawo omuzirakisa eyambudaabuda n’anzizaamu obulamu eyabategeeza nti nkyalimu akalamu era baasooka kuwakana.

Baali bankumidde dda agooto g’ennyimbe bbiri olw’ewaka ne ku mulimu gye nnali nkolera naye olw’okuba mukama yambikkako akasubi, nkyali mulamu n’okutuusa kati emyaka 15 egiyise era bankazaako lya muganda wa Yesu.

Abatongozza ekibiina

Abatongozza ekibiina

Bino byabadde bigambo bya Robert Junior Ssemuju omu ku baawona obutujju bwa bbomu obwakolebwa aba Al-Qaeda ku kisaawe kya Rugby e Lugogo nga July 11, 2010 omwafiira abasoba mu 70. Baabadde ku wooteri ya Jevine mu Lubaga nga batongoza ekibiina mwe beegattira ng’abasimattuka obutujju ekya Prospect Initiative.

Yategeezezza nti newankubadde yasigala nga mulamu naye ate kyamuleka ng’akoseddwa nnyo kuba omutwe kye nkana gwamementuka kwossa amagulu gaalemala ng’eyali akola emirumu gye egy’obubazzi obulungi kati akaluubirizibwamu.

Zura Ramathan, mukazi mutembeyi nga ye yasimuttuka butujju bwakolebwa okumpi ne Poliisi ya CPS mu Kampala ebibye yabinyumizza bw’ati;

Nnali ku Boba nga nva mu Bank nga ngenda Mulago, naddamu okutegeera nga ndi awo wansi balinga abatutomedde ng’owa Boda gwe nali naye ali awo wansi avaamu omusaayi mungi. Namukonoonako ne mubuuza nti aba boda mwabaaki batutomedde okola ki?

Nagenda okulaba nga nange nvaamu omusaayi era bwe neekwata mu kyenyi nga ndaba eriiso lyavuddemu dda, nga nzena nzijudde ebintu eby’efaananyiriza obucupa obutemeeteme.

Bantwala mu ddwaliro e Mulago gye nafunira obujjanjabi okumala omwezi. Oluvannyuma lw’okumusiibula agamba yakaluubirizibwa okujjanjaba ekiwundu ekyatuuka n’okuvunda olw’okuba eddagala lye baamuwandiikira nga lya bbeeyi talisobola.

Neewuba ku CPS emirundi mingi nga sifuna kuddibwamu okutuusa lwe baatuyita e Naguru Pulezidenti n’atuwa obukadde 10 kyokka nabwo bwampita mu ngalo kuba nasasula mabanja. Zura bw’agamba.

 

Ebizibu bye basanga.

Zura agamba nti yafuuka nga ddole y’abaana olw’okumusekerera ng’alina eriiso limu, obw’olumu talaba bulungi. Empewo eyingira mu liiso amazzi ne gafulumira mu nnyindo.

Hassan Ndugwa omutandisi w’ekibiina kino nga naye yasimattuka obutujju bwa 2010 yalaze lwaki beetaaga okufiibwako.

Yagambye nti baafuna okukosebwa mu bwongo, obulumi nga n’abamu baagongobala olw’ebisago ebyabatuusibwako ekibaleetera okwennyika mu birowoozo nga n’olumu bafiirwa obulamu n’emirimu gyabwe.

Yasabye okuyambibwako mu by’okwerabirira kuba tebalina kye balya ng’abaakosebwa tebakyasobola kukola olw’obulemu, agamba nti n’ekirala Uganda terina tteeka likwata butereevu ku baakosebwa obutujju ng’ayagala kirowoozebweko.

Batongozza ekibiina

Batongozza ekibiina

Obujjanjabi bawammanta buwammante olw’okuba bwa bbeeyi obujjanjaba ebisago bya bbomu.

Amyuka akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuziyiza obutujju, Col. Alex Tumushabe yagambye nti, bazzenga bakolagana n’ebibiina bingi ku bikwata ku butujju era n’ategeeza nti omulimu gwabwe omukulu gwa kubuziyiza.

“Tulina pulogulamu ennene eyitibwa P/CVET evunaanyizibwa ku baakosebwa obutujju. Abakosebwa abasinga bajjanjabibwa era bafiibwako n’abamu bafuna omukisa gw’okuddamu okusoma”. Tumusabye ng’annyonnyola.

Yategezeezza nti n’oluvannyuma lwa 2010, Gavumenti yatwala obuvunaanyizibwa abaakosebwa ne bafiibwako era bakolagana butereevu ne Minisitule y’ebyobulamu wamu ne ofiisi y’omukulembeze w’eggwanga obawa obuyambi obwetaagisa.

Yagambye nti amaloboozi gaabwe wakugatuusa eri be kikwatako okulaba nga bayambibwa okusingawo.

George Bigirwa okuva mu ofiisi y’omuwaabi w’emisango gya Gavumenti yategeezezza nti baakwetegereza etteeka ery’ogerwako kyokka n’abagumya nti emisango egiddizibwa abatujju bazze bagitwala mu kkooti abawawaabirwa ne bavunaanibwa mu mateeka nga n’egisembyeyo beebo abenyigira mu butujju bwa 2010.