Kasana Luweero bafunye abasaserdooti babiri n'abadyankoni musanvu

MUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa awadde obusaserdooti bannaddiini babiri ate abalala musanvu n'abawa obudyankoni n'abasaba okwetengerera mu kulamula ensonga babeere banywevu mu kukkiriza, okuyamba abali mu buyinike, okwewala okutamiirukuka, omululu n'ebirala ebiyinza okubagya ku mulamwa.

Abafunye obudyankoni nga babasabira
By Samuel Kanyike
Journalists @New Vision
OMUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa awadde obusaserdooti bannaddiini babiri ate abalala musanvu n'abawa obudyankoni n'abasaba okwetengerera mu kulamula ensonga babeere banywevu mu kukkiriza, okuyamba abali mu buyinike, okwewala okutamiirukuka, omululu n'ebirala ebiyinza okubagya ku mulamwa.
 
Yasinzidde ku lutikko e Kasana n'asaba abakulisitu okusabira abantu bano abayise mu bukungunta obungi basobole okuweereza obulungi.
 
"Omuntu okwevaamu ku bya Katonda kizibu nnyo era bano bazira tubeebaza nnyo", omusumba bwe yagambye n'asaba okwongera okuweereza abaana basome eddiini kuba ebikungulwa bikyali bingi naye abakunguzi batono.
 
Abaaweereddwa obusaserdooti mulimu Bruno Serunkuuma ne Edward Sempijja.
 
Abaafunye obudyankoni mulimu Cyprian Kaliisa, Hiraly Tebuseeke, Experito Kisitu, Mathew Mulamira, David Kato Nkugwa, Julius Luttamaguzi ne Paul Wasswa Lubega.
 
Omusumba Mukasa yagambye nti abantu bano bagidde mu kiseera ng'abakulisitu bavudde ku Katonda ne beemalira mu bubbi, ettemu, obusamize, enguzi, obwenzi n'ebikolwa ebirala ebinyiiza Katond