Poliisi evumiridde ebikolwa eby'okutwalira amateeka mu ngalo era n'etegeeza nga bwe bayise omuyambi wa pulezidenti ku nsonga z'abavubuka Justine Nameere ne bbaawe babeeko bye batangaaza ku kukubwa kwa Full figure.
Jennifer Namutebi Nakangubi ( Full Figure) yakubiddwa ensambaggere n'ebikonde mu kavidiyo akatambula ku mikutu egy'enjawulo era ng'alumiriza Justine Nameere ne bbaawe okumukuba.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti teri ali waggulu w'amateeka n'agattako nti bayise abantu bano, bennyonnyoleko.