Kitalo! omwana ow'emyezi etaano, afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde ne muganda we.
Bino, bibadde Magamaga mu disitulikiti y'e Mayuge , omuliro bwe gukutte ennyumba ne gutta omwana Rashida Kawuda.
Kigambibwa nti abadde alekeddwa mu nnyumba ne mwannyina ow'emyaka ena nga kigambibwa nti ono, akoolezezza ekibiriiti omuliro ne gukwata ennyumba mwe babadde.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, alabudde abazadde okwewala okuleka abaana abato bokka mu mayumba.