Abaliko obulemu bakubiriziddwa obutenyooma

EYALONDEDDWA okukiikirira abaliko obulemu ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntiko CEC, Shafic Mwanje asabye banne bonna abaliko obulemu gye bali obutenyooma baveeyo beesimbeewo  ku buli kifo  ky’obukulembeze ekigenda okuvuganyizibwako.

Abaliko obulemu nga bali mu lukiiko
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

EYALONDEDDWA okukiikirira abaliko obulemu ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntiko CEC, Shafic Mwanje asabye banne bonna abaliko obulemu gye bali obutenyooma baveeyo beesimbeewo  ku buli kifo  ky’obukulembeze ekigenda okuvuganyizibwako.

Muli bannamukisa abaliiko obulemu kubanga mwalonze omuntu atagenda ku bakkiriza kusiggalira mabega ng’abantu abaliiko obulemu bwe baabadde batuyisa wadde bannaffe nga bamaze okutuuka mu bifo ebinenne nga kye mwantaddemu.

“Nze ndi muzibe naye katonda yampa  okulaba mu mutima era omutima gwange mweru era buli aliiko obulemu yenna ngenda kufuba okulaba nga afuna mu bukulembeze bwa Gen. YK Museveni kubanga tubadde tubulamu omuntu atuyunga butereevu gyali” Mwanje bweyategezezza.

Mwanje bino yabyogeredde ku offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga e Kyambogo ku Mmande bweyabadde asisisnkanye abakulembeze ba NRM abaliiko obulemu okuva mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo okubeebazza okumulonda ssaako okubanjjulira by’agenda okutandikirako okubakoleera.

ABaliko obulemu nga bali mu lukiiko

ABaliko obulemu nga bali mu lukiiko

Mwanje yagambye nti bwe yali anoonya akalulu yabasubiza okubafunira ekitebbe kyabwe ekikulu mu bitundu bya Kampala era namaze dda okukifuna e Nansana nga kigaazi bulungi nga kiriiko buli  muntu yenna aliiko obulemu kyeyetaaga okukozesa gamba nga kabuyonjjo , amaddaala agabanguyiza okutuuka ku offiisi zabwe.

 “Ensonga lwaki offiisi  twagifunye Nansana kijja kuyamba abantu baffe abaliiko obulemu obutatawanyizibwa jaamu gattako okubeera entabiiro y’amakuubo kumpi gonna agayingira Kampala gamba abava e Masaka, Mubende, Hoima, Bombo, Kayunga  n’abava e Jinja basobola okukozesa Northern By Pass  okuva e Bweyogerere.

Omumyuka wa Mwanje ku lukiiko lukiiko olufuzi olwa CEC, owa “Central Region” Ying Sulaiman Mayanja yagambye nti  ye yakuguka mu kompyuta era agenda kufuba okulaba nga buli mulema waali bamanyawo era bamuwandiike bamanye bamekka be balina mu  ggwanga .

“Nga ssentebe bweyasazeewo nti buli aliiko obulemu awandiisibwe ekirungi nze nasoma kompyuta ngenda kubayingizamu abantu baffe abasoma bamanyibwe banoonyezebwe emirimu” Mayanja bweyategezezza.