Ababaka batabukidde aba KCCA olw'obutasaba ssente z'abaakosebwa e Kiteezi mu mbalirira

ABAKUGU mu KCCA batunudde ebikalu mu kakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti ababaka bwe babadde babakunya olw’obutateekaayo kusaba kwa ssente eziteekeddwa okuliyirira abaakosebwa e Kitezi mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi guno.

Ababaka batabukidde aba KCCA olw'obutasaba ssente z'abaakosebwa e Kiteezi mu mbalirira
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision
#Palamenti #KCCA #Kiteezai #Ssente #Babaka #Kutabuka

ABAKUGU mu KCCA batunudde ebikalu mu kakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti ababaka bwe babadde babakunya olw’obutateekaayo kusaba kwa ssente eziteekeddwa okuliyirira abaakosebwa e Kitezi mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi guno.

Bano nga bakulembeddwa amyuka akulira KCCA Benson Kigenyi bwe babadde balabiseeko mu kakiiko kano okunnyonnyola ku mivuyo egyalabikira mu lipooti ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24, ssentebe w’akakiiko Medard Ssegona abakunyizza ku nsonga y’okumenya amayumba g’abantu nga bakola emirimu gyabwe ne babasuubiza obasasula ate ne babaleka mu bbanga.

Ssegona bano abatabukidde ng’ababuuza lwaki tebateekayo kusaba eri ministule y’ebyensimbi okulaba ng’abantu basasulwa ne balowooleza gavumenti obutaba na ssente zikola ku bantu bano.

Alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo erambise nga waliwo okunoonyereza okulaba ng’abaakosebwa bonna baliyirirwa. Kyokka abaafiirwa abaabwe bokka be baweebwa obukadde 5 buli ffamire ekintu ekyanyiizizza ssentebe n’abuuza oba nga ddala obukadde 5 bwali bugula obulamu.

Ssegona era yatabukidde William Epiaka omu ku bavunaanyizibwa ku nsonga eno olw’obutafaayo kulaba nga ssente zino zisabwa n’agamba abantu ekika kino be bavumaganya gavumenti.