Aba UCC bawakanyizza ekibonerezo ekyassibwa ku tteeka lya copyright

EKITONGOLE ekirungamya eby’empuliziganya mu ggwanga – Uganda Communications commission kigobye ekirowoozo ky’okusiba ababeera bajingiridde obuyiiya bw’abalala emyaka 10 oba okusasula fayini ya bukadde 50 kyebagambye nti ekibonerezo kizito nnyo ne basaba kiddizibwe ku myaka 5 oba okusasula obukadde 20

Aba UCC nga bali mu kakiiko ka Palamenti
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

EKITONGOLE ekirungamya eby’empuliziganya mu ggwanga – Uganda Communications commission kigobye ekirowoozo ky’okusiba ababeera bajingiridde obuyiiya bw’abalala emyaka 10 oba okusasula fayini ya bukadde 50 kyebagambye nti ekibonerezo kizito nnyo ne basaba kiddizibwe ku myaka 5 oba okusasula obukadde 20.

Nga balabiseeko mu kakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka akali mu kutunuulira ennongosereza mu teeka erirungamya obuyiiya -The Copyrights and neighbouring Amendment Bill, aba UCC bategeezezza nti ekirowoozo kya minisitule ya ssemateeka okujja ekibonerezo kino ekiri kati kukusibwa omwaka gumu oba okusasula fayini ya mitwalo 50 okuddizibwa ku bukadde 50 kiba kizitoye nnyo.

Abdul Sulaiman Sallam Waiswa avunanyizibwa ku by’amateeka mu UCC agambye nti tebawakanya kyakwongeza ku buzito bwa kibonerezo wabula basaba kibeere kisaamukasaamu era nga kijja kuyamba abantu okutetantala kujingirira by’abalala omuli enyimba, film n’ebirala.

Ekitongole kino era kyaniriza omuwendo ogutekeddwa ku kampuni z’a layini z’amasimu ez’eyambisa ennyimba nga Caller Tunes kyebagambye kijja kuyamba abayimbi okufuna mu buyiiye byabwe ekimala wabula nebasaba wabeerengawo endagaano ezikolebwa mukusooka okutandiikira ku myezi mukaaga nga waliwo okukanya ku muwendo ogusasulwa