Wakati mukwetegekera akalulu ka 2026, abakulira eby'okwerinda mu bitundu bye Karamoja basisinkanye abavubuka abeegattira mu kibiina kya YK Patriots ne kigendererwa ekyokulaba nga okulonda tekwetobekamu mivuyo nga bwekibadde mu kulonda okubaddewo.
Aba YK Patriots nga bali n'abakulira ey'okwerinda
Banakisinde kya YK mwoyo gwa ggwanga batandise kakuyege w'okusomesa bannayuganda kungeri yokwetangira ekibba bululu.
Kaweefube ono gwebaliko wakumala emyezi esatu nga bano batandikidde mu Bendobendo lye Karamoja.
Bano badokedde ku kitebe kya District ye Moroto nga eno gyebasisinkanidde abakulu omubadde RDC,DISO abakulira amagye mu kitundu kino awamu ne ba agents mu bitundu ebyengyawulo.
Okusinziira ku RDC we Moroto Tuko Sam asinzidde wano neyebaza bamwooyo gwangwanga bano okuvaaye nekigendererwa ekyokusomesa nokukuma emirembe muggwanga.
Ono alabudde omuntu yenna alowooza okutabangula emirembe mu kitundu kyatwala nga webabadde bagezaako mu kulonda okuwedde okwawaansi.
Mungeri yemu yeyamye okukolagana ne bamwooyo gwa ggwanga bano okulaba nga babunyisa amawulire ewatali kutataganyizibwa.
Aba YK Patriots nga bawayaamu n'abebyokwerinda
Ye munanmagye eyali aduumira ekibinja eky'okusatu Maj.Gen.Don Nabasa mu lukiiko akuutidde abavubuka okwewala enjawukana mu bibiina basobole okukuuma emirembe mu ggwanga.
Abakuutidde okwewala enjawukana mu mawanga n'abajjukiza buli muntu okukola kyalina okukola mu bwesimbu.
Aduumira ekibinjja ekyokusatu Maj.Gen.Sserunkuuma Wilberforce asiimye emirimu egikolebwa ba mwooyo gwa ggwanga era n'abasubiza okutambula awamu nabo.
Akuliddemu ekisinde kino Yowabu Nuhu mukwogerako naffe agamab nti mirundi mingi waliwo emiwaatwa egikolebwa nga nabamu kubantu abalina okukuuma akalulu tebafiriddwako kusomesebwa ku kuebalina okukola ekivako ekibba bululu nga ebivamu kulwanagana mu bibiina.
Ategezeza nti bakwetoloola eggwanga lyona nga okulonda tekunabaawo okuteeka teeka abavunanyizibwa kukukuuma akalulu obuvunanyizibwa bwabwe okulaba nga omukulembeze awangulira wagulu ddala.