ABABAKA ba palamenti aba NRM mu bitundu bya Buganda nga bakyagenda mu maaso n'okutambuza enjiri gye baatuuma BUGANDA KU MUSEVENI ku Ssande baasibye Kalungu ne bagumya abaayo nti Gavumenti emaliridde okumalawo ebibasomooza.
Babadde mu lukungaana gagadde lwe bakubye mu kisaawe ky'e Bulakati e Lukaya nga bakulembeddwa Ssentebe wabwe Robert Migadde ow'e Buvuma ne Hajji Haruna Kasolo akulira NRM mu Buganda ne bategeeza nti Pulezidenti Museveni kawefube w'okulaba nga buli muntu ali bulungi amukutte kanabwala.
Abakulembeze e Kalungu okuli omubaka omukyala Aisha Ssekindi,RDC Seif Katabaazi,eyaliko minisita w'ebyokwerinda Vincent Ssempijja ne Ssentebe wa NRM Hajji Twaha Kiganda Ssonko bababulidde ebikyasomooza ekitundu.
Banokoddeyo enguudo embi,enkayana z'ettaka n'ebibanja,amazzi n'amasannyalaze ,ebbula ly'emirimo mu bavubuka n'empeereza mu malwaliro n'amasomero ga Gavumenti bye bagambye nti singa bikolwako mu bwangu NRM yakuddamu yeddize ekitundu kino.

Bannakibiina kya NRM nga bali e Kalungu
Minisita w'ettaka Judith Nabakooba yasinzidde wano n'akubiriza abanyigirizibwa bonna obutasirika busirisi nti baddukire mu bekikwatako bagenda kuyambibwa awatali kyekubiira.
Ssempijja yasabye banna Kalungu okusiima Pulezidenti Museveni olw'obukulembeze obutaliimu kusosola n'obutebenkevu Gavumenti ya NRM bw'ettadde mu ggwanga ne wabweru walyo kyagambye nti kiyambyeko okutumbula eby'enfuna.
Kasolo yakkaatiriza nti bataddewo ennaku 60 zokka okugonjola byonna ebiruma banna Masaka n'akubiriza abantu okutwala ensonga zaabwe mu bifo ebitereddwawo bayambibwe.
Wabula yalabudde abakozi ba Gavumenti ku mitendera egy'enjawulo nti abasiiga ekifaananyi ekibi mu bantu nga bakola emirimo gy'ekiboggwe n'obulyake n'agamba nti ku mulundi guno bagenda ku kangavvula buli anakwatibwa mu vvulugu ono.
Abawagizi ba NRM abeyiye mu bungi ku mukolo guno basanyusiddwa abayimbi okubadde Eddy Kenzo, David Lutalo,Gravity Omutujju,Stabua Natoolo,Kizito Zavuga n'abalala.